Amawulire

KCCA etongozza okukola oluguudo olugenda ku kitebe kya munisipaali y’e Nakawa

KCCA etongozza okukola oluguudo olugenda ku kitebe kya munisipaali y’e Nakawa e Nagulu olubadde mu mbeera embi.

Town Clerk w’e Nakawa, Moses Ssempa (owookusatu ku ddyo) Mmeeya Ali Buken Nubian Li (mu ssuuti ) n’abakulembeze abalala nga batongoza okukola oluguudo olugenda ku kitebe kya Munisipaali y’e Nakawa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KCCA etongozza okukola oluguudo olugenda ku kitebe kya munisipaali y’e Nakawa e Nagulu olubadde mu mbeera embi.
Mmeeya asabye abantu obutagaana kuwaayo bitundu ku ttaka  lyabwe ku mulimu guno.

Okukola oluguudo luno kwatongozeddwa Mmeeya wa Nakawa, Ali Bukeni Nubian Li ng’ali wamu ne Town Clerk wa Munisipaali no Moses Ssempa.
Oluguudo luno oluyitibwa Estate Road, Ssempa yagambye nti luliko obuwanvu bwa mmiita 500 era nga lugatta ku luguudo lw’e Nagulu ne Katalima nga lubaddemu empompoma ate nga lya ttaka. Yategeezezza nti ekkubo ng’oggyeko okugenda ku kitebe
kya Munisipaali y’e Nakawa era lye ligenda ne ku ddwaaliro erya Uganda Heart Institute eriri mu kuzimbibwa.
Ssempa yagambye nti oluguudo tebaluwadde kkampuni yonna nga lugenda kukolebwa aba KCCA nga bagenda kuteekako n’ebitaala n’ategeeza nti bali ku kaweefube wa kumalawo nguudo z’ettaka mu Nakawa .
Mmeeya Bukeni yagambye nti ebbanga libadde ddene ng’ekkubo  lino liri mu mbeera kyokka nga Munisipaali y’e Nakawa ekwata kifo kyakubiri mu kuyingiza omusolo
eri Gavumenti. Yategeezezza nti baasazeewo okwekubira omulanga mu CityHall, KCCA n’ewulira okusaba
kwabwe.
Bukeni yagambye nti mu kiseera kino enguudo ez’enjawulo ziri mu kukolebwa mu  Nakawa west ne Nakawa East wabula n’endala nyingi zigenda n’asaba abali mu bitundu enguudo gye zigenda okuyita okukolagana obulungi n’abagenda okuzikola.  Kansala wa Nagulu 1 Joseph  Mudhasi yeebazizza obukulembeze bwa munisipaali y’e Nakawa olwa kaweefube gwe bakoze okukola oluguudo luno.

Tags: