OMUKAZI agambibwa okusala abaana n’abatta e Ggaba asimbiddwa mu kkooti.
Munnakenya Dorris Wamwoyo, 43 yasimbiddwa maaso g’omulamuzi Aidah Nanjala owa kkooti y’eddaala erisooka e Makindye eyamusomedde emisango kyokka teyamukkrizza kwewozaako kuba emisango egimuvunaanibwa gya nnaggomola nga kkooti eno terina lukusa kugiwuliriza.
Wamwoyo okuleetebwa mu kkooti yaggyiddwa mu ddwaaliro ly’abalwadde b’emitwe e Butabika gye yabadde yatwalibwa okwekebejjebwa.
Omulamuzi yamusomedde emisango munaana okuli egy’okubutemu ebiri gy’agambibwa nti yatta abaana be’ Khadija Daisy Traore, ne Danita Mariam Traore n’okugezaako okutta Delma Aisha Traore, Delma Hawa Traore ne Delani Zainabu Traore.
Wamwoyo era yavunaaniddwa n’okwokya ennyumba y’amaka ga bba Idris Traore n’okwonoona ebintu okuli mmotoka ekika kya drone nnamba UA 140DC eya bba n’okugezaako okwetta.
Omulamuzi yamugambye nti waakuleetebwanga mu kkooti eno okutuusa oludda oluwaabi bwe lunaamaliriza okunoonyereza asindikibwe mu Kkooti Enkulu.
Kkooti yamusindise mu kkomera okutuusa nga December 15, 2026.