Amawulire

Omuyizi eyasangibwa avuga ng’atamidde waakusasula akakadde kalamba oba okusibwa emyezi 6

OMUYIZI w'essomero aweereddwa ekibonerezo kya kusasula akakadde kalamba ak'ensimbi oba okusibwa emyezi mukaaga bw’alemererwa lwa kukwatibwa ng’avuga atamidde.

Omuyizi eyasangibwa avuga ng’atamidde waakusasula akakadde kalamba oba okusibwa emyezi 6
By: Racheal Nankya, Journalist @New Vision

OMUYIZI w'essomero aweereddwa ekibonerezo kya kusasula akakadde kalamba ak'ensimbi oba okusibwa emyezi mukaaga bw’alemererwa lwa kukwatibwa ng’avuga atamidde.

Mutebi Ng'asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi mu Kkooti Ya Cityhall (1)

Mutebi Ng'asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi mu Kkooti Ya Cityhall (1)

Brian Mutebi 22, omuyizi era nga mutuuze w'e Nansana y’asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi Nicholas Aisu mu kkooti ya Cityhall nasomerwa omusango guno gwakiriza

 

Omuwaabi wa Gavumenti Mercy Yamangusho Khaidara ategeezeza kkooti nti emisango gino gisuse obungi nga n'ekikolwa kyeyakola kya bulabe eri obulamu bwe n'abalala abakozesa ekkubo newankubadde Mutebi asabye kkooti ekisonyiwo tekikiriziddwa

 

Okusinziira ku mpaaba kigambibwa nti, nga November 14, 2026 mu bitundu by'e Bukoto Mutebi yasangibwa avuga ekika ky'emmotoka Toyota Vitz ku nnamba UBR 690 E wabula ng’atamidde.

 

Era oludda oluwaabi lugamba nti mu kiseera kye kimu yaweereza obubaka ng’agamba nti minisita Joseph Kyofatogabye mu kukumpanya era yabba ssente ku bavuzi ba bbooda ne ttakisi.

 

Ono teyakoma okwo era ng’ayita ku mukutu gwe gumu,yategeeza nga Muzamir Mirundi Katumba bwe yabba ettaka erisangibwa e Kamwokya okutudde essomero lya KCC erya pulayimale.

Tags:
Muyizi
Ssomero
Kutamiira
Brian Mutebi