Enkya, emisomo gya Pakasa gitandika mu butongole wali e Butabika ku bbaanguliro ly'ekitongole kya Enterprise Uganda era gigenda kuggulwawo minisita w'ebyensimbi Henry Musaasizi.
Gutegekebwa Vision Group era ng' abaguvujjiridde kuliko aba Centenary Bank, aba Pearl Bank, minisitule y'ebyensimbi, ekitongole ekiwooza emisolo ekya URA, Global Entrepreneur network n'abalala.
Yasin Katwere nnannyini kibanda ky'emmotoka ekya Success Motors e Nakawa mu Kampala, Barbra Ofono ow'amasomero ga Victorious , Dr. Benon Luggya owa Maganjo Grain Millers, Owek. Gaster Lule Ntakke n'abalala bangi be basuubirwa okusomesa mu musomo guno.
Akulira Enterprise Uganda Charles Ocici, ayongedde okukoowoola abantu okugenda mu bungi e Butabika bayige bingi ku bizinensi.
Omu ku bategesi b'omusomo guno, Moses Mulondo owa Vision Group, agambye nti omusomo gwa bwereere, era n'akoowoola abantu bagende bayige bwe batandika bizinensi, bwe bazirabirira, engeri gye basobola okunoonya obutale n'ebifo gye basobola okwewola ssente.