Amawulire

Katikkiro awabudde ku baana abali mu luwummula

Katikkiro awabudde ku baana abali mu luwummula 

Katikkiro Mayiga ng'ayogera
By: Dickson Kulumba, Journalist @New Vision


KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga alambise Obuganda ku ndabirira y’abaana mu kiseera kino ng’amasomero gateekerateekera okubawummuza okuva ku masomero okudda awaka.

Omubaka Teddy Nambooze ng'ayogera

Omubaka Teddy Nambooze ng'ayogera

Mayiga agambye nti abaana basaanye okussibwako nnyo eriiso waleme kubeerawo abawabya n’okubakyamya gyebatalina kugenda kubanga bwebatafeeyo, eggwnaga terijja kufuna bantu abakuziddwa obulungi.

Katikkiro Mayiga ng'awuubira ku bantu abaleese oluwalo

Katikkiro Mayiga ng'awuubira ku bantu abaleese oluwalo

Okwogera bino abadde atikkula oluwalo okuva mu ggombolola okuli Nsangi e Busiro, Butuntumula e Bulemeezi, Kawuga- Mukono e Kyaggwe, Buwama- Mawokota, Kawempe, Nakawa ne Makindye okuva mu Kyadondo n’asaba abazadde okukuza abaana kuva buto nga balinyisa omutindo.

Aba Janan Schools abalina amatabi okuli e Kabalagala e Makindye ne Bombo- Kalule e Bulemeezi bakulembeddwamu Omukungu Mike Kironde ne baleeta oluwalo lwa bukadde 45 ate Bannakibiina ki Buganda Kwe Kwaffe baleese obukadde mukaaga.

Minisita wa gavumenti ez’ebitundu mu Buganda, Joseph Kawuki yeebazizza abaami ba Kabaka olw’okukunga abantu nebaleeta oluwalo olunene embuga oluweredde ddala obukadde 168.

Dr Nakalinda Lubega omumyuka owookubiri owa Kaggo ng'ayogera

Dr Nakalinda Lubega omumyuka owookubiri owa Kaggo ng'ayogera

Omukungu Kironde asinzidde wano n’asaba amasomero n’amattendekero g’ebyenjigiriza okuggya abaana mu buto nga benyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka okuli oluwalo, kibayigirize okuva buto nga baagala Obwakabaka bwaabwe n’okubuwagira.

Katikkiro Mayiga ng'abuuza ku Mubaka omukyala ow'abantu be Mpigi mu Palamenti

Katikkiro Mayiga ng'abuuza ku Mubaka omukyala ow'abantu be Mpigi mu Palamenti

Ye Omumyuka Owookubiri owa Kaggo omwami atwala essaza ly’e Kyadondo, Dr. Nakalinda Lubega agambye nti emitimbagano gyonoonye abaana abato n’asaba abazadde okwegendereza amassimu gebawa abaana wabula babateeke mu mbeera ebayigiriza emirimu.

Tags: