Amawulire

Bisopu Mawa n’Omuyimbi Hawa Mawa Bajaguzza Emyaka 10 mu Bufumbo

Omubuulizi w'Enjiri Bisopu Godfrey Mawa n'omuyimbi w'ennyimba za z’eddiini, Hawa Musa Mawa bajaguzza emyaka 10 mubufumbo.

Bisopu Mawa n’Omuyimbi Hawa Mawa nga babasabira
By: Mathias Mazinga, Journalist @New Vision

Omubuulizi w'Enjiri Bisopu Godfrey Mawa n'omuyimbi w'ennyimba za z’eddiini, Hawa Musa Mawa bajaguzza emyaka 10 mubufumbo.

Okwebaza baakukoledde mukusaba okw'okukeesa obudde, okw'abadde mu Kkanisa ya Redeemed of the Lord Evangelistic Church e Makerere, ku Lwokutaano.

Sh 97

Sh 97

Bisopu Mawa y'ategeezezza nti weyawasiza Hawa, abantu bangi baali baamuyisaamu emimwa, ngabagamba nti obufumbo  bwe bwali tebuyinza  kuwangaala, olw’okuba nga gweyali awasizza yali ssereebu , ate nga eby’enfuna bye tebyaali birungi nnyo.

Yategeezezza abantu nti rkibayambye okusigala awamu, kwekwegayirira Kattonda, okusonyiwagana, okubeerangana, nokugumiikiriziganya.

Yeebazizza Katonda amukuumye, n' okumugabirira, ate n'amuwa n'ezzadde 

Bamawa bazzemu okukuba ebiragaano, buli omu n'asubiza okwongera okunywerera ku munne.Omukolo gw'akuliddwa Paasita Robert Kasaija. Omutime John Bunjo y'eyabuulidde.

Sh 97

Sh 97

Abasumba ab'amaanyi, okw'abadde Rev. Irene Manjeri Nalongo, Wilson Bugembe ne Bisopu James Kabuye nabo baabaddewo.

Bisopu Mawa ajjukirrwa nnyo olw'ekikolwa ekiwuniikiriza kyeyakola emyaka 10 emabega, bweyasiba mmotoka zonna kunkulungo y'e Wandegeya, n'afukamira mu Luguudo wakati n'asaba Hawa Musa obufumbo, ate oluvannyuma n’amukuba empeta

Tags: