Amawulire

Ssemaka akubye mukazi we embaga makeke oluvannyuma lw'emyaka 60 mu bufumbo!

OMUKADDE Maria Namwanje ow'emyaka 96 asamalirizza ebyalo Bba we Mzee Ssepiriya Mukwaya ow'emyaka 91 bwebamaze emyaka egisoba mu 60  bw'amukubye embaga makeke n'asamba gawuni n'asamba Gawuni n'alumya abateesi ekisombodde abantu okuberabirako nga bamema.

Ssemaka akubye mukazi we embaga makeke oluvannyuma lw'emyaka 60 mu bufumbo!
By: James Magala, Journalist @New Vision

OMUKADDE Maria Namwanje ow'emyaka 96 asamalirizza ebyalo Bba we Mzee Ssepiriya Mukwaya ow'emyaka 91 bwebamaze emyaka egisoba mu 60  bw'amukubye embaga makeke n'asamba gawuni n'asamba Gawuni n'alumya abateesi ekisombodde abantu okuberabirako nga bamema.

Abamu ku Bakristu abaabaddewo nga abajulizi okwelolera ku bagole

Abamu ku Bakristu abaabaddewo nga abajulizi okwelolera ku bagole

Maria Namwanje ow'emyaka 96 nga mutuuze w'e Nalyamagonja ekisangibwa e Gayaza,agatiddwa mu bufumbo obutukuvu ne kabiite we Ssepiriya Mukwaya ow'emyaka 91 mu Eklezia y'e Gayaza nga Mmisa y'okubagatta yakulembeddwmau Faaza Peter Mugenyi.

 

Abakadde bano,betusanze ku Mbaga yaabwe ebategekeddwa Abakristu mu Kisomesa kya St.Javiira e Namagonja bakira bakumba mu ngeri erumya abateesi ng'omugole omukazi Namwanje asambye Gawuni n'alumya abateesi.

Abagole nga basala kkeeki

Abagole nga basala kkeeki

Abantu ab'ebika byonna omwabadde,abaana,abavubuka ne bakadde bannabwe baakungaanye Nguudo okubawuubirako nga n'abalala baasazewo okubakwata obutabi obw'ebyafaayo bwebaliraga abazzukulu.

 

Wakati mu Ssanyu Omukadde Namwanje yebazizza Katonda olw'okwanukula essaala ye Bba n'amukuba embaga n'ategeeza nti okuva obuto bwe abaddenga asabirira embaga n'ategeeza nti ekirooto kye mukama amusobozesezza okukituukako.

 

Namwanje,asabye abawala abato obutaggwamu Ssuubi mu buli mbeera bekwate Katonda ate beyise bulungi mu maka n'abantu bebawangaala nabo ku byalo.

 

Ye Omugole omusajja  Mzee Ssepiriya Mukwaya,a gambye nti emyaka egisoba mu 60 gyebamaze ne kabiite we Namwanje abadde yegomba okumukuba Embaga naye asambe ku Gawuni nti naye obusobozi bubadde bwabula okutuuka omukristu omu lwe yamuwa ekiroowozo agattibwe olw'ensonga nti abadde  mujjumbize  nnyo mu Eklezia naye nakkiriza olwo Abakristu b'e Namagonja ne bekolamu omulimo ne babategekera embaga.

 

Mzee Ssepiriya asiimye Ssabakristu w'e Namagonja Dr.Nakitende Irene ne Ssabafumbo Ivan Lukabwe olw'okubakolamu omulimo ppaka lwe batuuse ku kkula ly'obufumbo obutukuvu.

 

Ye Dr.Nakitende Irene,kulw'Abakristu b'e Nalyamagonja yebazizza Katonda olw'obulamu bw'awadde ba Ssepiriya n'abasobozesa okutukuza obufumbo bwabwe ku myaka gyabwe egy'ekikadde n'asaba abavubuka obutalina kusooka kugaggawala nnyo wabula bakozese ekitono kyebalina bakole embaga zebasobola baleme kulinda bukadde.

 

Bo abavubuka aberabidde ku bagole bano,baagambye nti embaga yaabwe ebadde yabyafaayo nga bagamba nti babadde tebalabangako bakadde bakola mbaga yaabwe esooka ku myaka egyo era bangi bagamba baafunyemu essomo.

Tags:
Amawulire
Ssepiriya
Gawuni
Mzee