Abadigize bakyekoze ku Lwomukaaga mu Nyege Nyege. Abadigize n’abazungu beeyiye mu kivvulu kya Nyege Nyege okulya ssente n’okunyumirwa omuziki ogwa buli kika.
Ku mulundi guno abakazi be baabadde abangi okusinga abasajja era nga buli w’oyita amaasokgatuukira ku kijuujulu ekisibye ‘nyash’ ng’enjogera y’ennaku zino bw’eri.
Abamu beesaze obuwero, era kata abasajja ensingo zibanuuke nga batunuulira byana biwala ebyamyuka nga ettungulu.
Siteegi z’abadde musanvu abayimbi ne ba Dj ab’enjawulo kwe baayimbidde n’okutabulira abadigize omuziki naye siteegi eyasinze okukwata abantu omubabiro ye ya Uganda Waragi eyabaddeko n’abayimbi abanayuganda awamu ne ba DJ.
Okuva ku Lwokutaano abamu ku bayimbi abaabaddewo kuliko Jackie Chandiru, The Mith n’abalala wabula King Saha lwe yabadde ateekeddwa okuyimba teyayimbye kuba oluvannyuma lw’okwezooba n’abeebyokwerinda ng’ayagala okuyita ku byuma ebikebera n’abavubuka abaabadde basoba mu 30 nga tebakebeddwa.
Waabaddewo okusika omuguwa nga King Saha n’abavubuka be bajeemera abaserikale era oluvannyuma King Saha yalagidde ‘eggaali ye’ okwelyawo baddeyo era tebaayingidde mu kivvulu. Bino byonna byakakasiddwa omwogezi wa Poliisi mu kitundu kya Ssezibwa, Hellen Butoto.
Butoto yawakanyizza n’ebyabadde bigambibwa nti abaserikale balwanye ate omu n’akookinga emmundu ekitaabadde kituufu.
Butoto era yategeezezza nti basobodde okuzuula amasimu agaabadde gabbiddwa agawerako era n’asaba abantu ababbiddwako amasimu gaabwe okugenda ku Poliisi okugafuna nga balina n’obukakafu obulaga nti gaabwe.
Butoto yayongedde n’ategeeza nti baakutte abamenyi b’amatteeka abasoba mu 20 nga beekusa ku misango gy’obubbi bw’amasimu n’okunyakula ensawo n’ebintu by’abakazi.
Ku Lwomukaaga, ba Dj okwabadde Shakib Cham, Yemi, Sheila Gashumba, Trizzy ne Etania n’abalala baakubidde abadigize omuziki paka okukeesa obudde.
Abadigize baalidde ne beekatankira n’emyenge egy’enjawulo era abamu baalabiddwako nga batagala nga bawaniriddwa ate abalala nga basesema.