ABASIBE 186 be bamu ku bagenda okutuula ebigezo by’ekitongole ekibaga n’okugolola ebigezo by’ebyemikono, ne bizinensi ki Uganda Vocational and Technical Assessment Board (UVTAB) olwa leero.

Oyesigye ng'annyonnyola.
Oyesigye agamba nti omulundi ogusookedde ddala ekitongole kyawandiisa abasibe 186 wansi wa Uganda prisons service era nga bano bava mu bitundu 13
Bano ekitongole kyabasonyiwa ensimbi z’okwewandiisa kisobozese abasibe bano okubaako obukugu bwe bayiga bwe baliggyamu ensimbi nga bamaze okukola obusibe.
Ebibuuzo bino bitandika leero Mmande 23 November okutuuka nga December18, 2026. Omugatte, ekitongole kiwandiisiza abayizi 111,494 nga ku bano 43,684 bawala ate abalala 67,810 balenzi era baakutuulira mu bifo 1,147 okwetooloola eggwanga.
Bawandiisiza n’abayizi abaliko obulemu 143 mu bifo 6O , okuli abatawulira , abatalaba , obulemu obw’omubiri n’obwongo era ekitongole kissizzaayo abanaabayambako 130 okuddamu ebibuuzo nga n’abamu baakwongerwa obudde basobole okuddamu obulungi ebibuuzo byabwe byonna.
Oyesigye yagambye nti ekitongole kyazza empeereza yaayo ku mutimbagano nga abayizi abakola practicals obubonero bwabwe bussibwamu okuyita mu nkola eno era ng’eno y’egenda okuba enkola okuva ku bibuuzo by’omwaka guno.