Amawulire

Agambibwa okuba ow'omutawaana mu kubba n'okutulugunya abatuuze e Nansana poliisi emukutte!

OMUSAJJA agambibwa okuba ow’omutawaana mu kubba abatuuze n'okubatulugunya e Nansana, poliisi emukutte.

Agambibwa okuba ow'omutawaana mu kubba n'okutulugunya abatuuze e Nansana poliisi emukutte!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMUSAJJA agambibwa okuba ow’omutawaana mu kubba abatuuze n'okubatulugunya e Nansana, poliisi emukutte.

 

Shafiki Ssekisonga amanyiddwa nga Vibrator 38, y'akwatiddwa poliisi nga kigambibwa nti baludde nga bamuyigga.

Ssekisonga ekyakwatiddwa.

Ssekisonga ekyakwatiddwa.

Bamukutte atambula ne munne ku luguudo lwa  Alex Kalema e Nansana mu Wakiso  era mu kumwaza , kigambibwa nti bamusanze n'ebyuma ebyeyambisibwa okumenya , akambe, akasumeeni, abisumuluzo waya ne kalonda omulala.

Ebimu ku bintu bye baamukutte nabyo

Ebimu ku bintu bye baamukutte nabyo

Kitegeezeddwa nti ono azze akwatibwa poliisi ne bamuggalira emirundi egiwerako ku misango gye gimu. Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti okubuuliriza kugenda mu maaso.

Tags:
Amawulire
Poliisi
Kubba
Nansana
Batuuse
Kutulugunya