Amawulire

Ow’emyaka 91 akubye kabiite we ow’emyaka 96 embaga n’alumya abateesiOw’emyaka

OMUKADDE Maria Namwanje ow’emyaka 96, acamudde ebyalo nga bba Muzeeyi Ssepiriya Mukwaya ow’emyaka 91 bwe bamaze emyaka egisoba mu 60 amukuba embaga n’asamba ggawuni nga bw’amema.

Bassepiriya oluvannyuma lw’okugattibwa mu bufumbo obutukuvu.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUKADDE Maria Namwanje ow’emyaka 96, acamudde ebyalo nga bba Muzeeyi Ssepiriya Mukwaya ow’emyaka 91 bwe bamaze emyaka egisoba mu 60 amukuba embaga n’asamba ggawuni nga bw’amema.
Namwanje, omutuuze w’e Nalyamagonja e Gayaza ng’atambula akutte omuggo n’abantu okumuwanirira, yagattiddwa ne Ssepiriya mu Eklezia y’e Gayaza nga Mmisa y’okubagatta yakulembeddwaamu Faaza Peter Mugenyi.

Embaga yaabwe eyabategekeddwa Abakristu mu Kisomesa kya St. Javiira e Namagonja, bakira bakumba mu ngeri erumya nga Namwanje bw’awanika n’omukono okulaga empeta gye baamunaanise, olwo enduulu n’eraya, mu baabaddewo ng’abajulizi nga namukadde ono awona obufumbo bwa kawundo kakubye eddirisa.

Bassepiriya oluvannyuma lw’okugattibwa mu bufumbo obutukuvu.

Bassepiriya oluvannyuma lw’okugattibwa mu bufumbo obutukuvu.


Omukadde Namwanje yeebazizza Katonda olw’okwanukula essaala ye, bba n’amukuba embaga n’ategeeza nti kuva obuto bwe, abadde asabirira embaga n’akuutira abawala abato obutaggwaamu ssuubi mu buli mbeera beekwate Katonda.
Muzeeyi Ssepiriya yagambye nti emyaka egisoba mu 60 gye bamaze ne kabiite we Namwanje, abadde yeegomba okumukuba embaga naye ng’obusobozi butono okutuusa Omukristu omu lwe yamuwa ekirowoozo agattibwe kuba mujjumbize mu Klezia
Tags: