Amawulire

Bayisizza etteeka buli maka okubeera n’omusiri gw’emmere

ABAKULEMBEZE mu muluka gw’e Kibirizi mu ggombolola y’e Bamunanika mu disitulikiti y’e Luweero, bayisizza etteeka ku byalo musanvu nga buli mutuuze alina okuba n’omusiri gw’emmere ng’ataakikole waakuvunaabibwa.

Ssentebe Mukasa mu lukiiko
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABAKULEMBEZE mu muluka gw’e Kibirizi mu ggombolola y’e Bamunanika mu disitulikiti y’e Luweero, bayisizza etteeka ku byalo musanvu nga buli mutuuze alina okuba n’omusiri gw’emmere ng’ataakikole waakuvunaabibwa.
Abakulembeze abaayisizza etteeka lino be bakulembera ebyalo okuli; Busambu, Kibibi, Kisogozi, Nkuluze, Kisanga, Gavu ne Nkokonjeru ng’okutuuka okukola kino, kivudde ku bubbi obususse olw’abavubuka abataagala kukola ate ne baagala eby’amangu.

Ekiragiro kino kyatuukiddwaako bwe baabadde mu lukiiko olw’abakulembeze abatwala ebyalo omusanvu ebyo, olwayitiddwa ssentebe wa LC II, Mukasa Kamaadi n’ekigendererwa eky’okulowooleza ekitundu kyabwe n’okukendeeza ku bubbi ku byalo bino ate nga n’abazadde, tebakubiriza baana baabwe kukola.
Kamaadi yagambye nti kikwasa ensonyi amaka okubeera n’ebibanja kyokka abaana ne bagaana okukola ne badda mu kutulugunya ekitundu nga babba. Ayongerako nti baakutambula nju ku nju okulaba nga balondoola abatuuze abatalina misiri gya mmere kuba omuntu abeera n’omusiri gw’emmere, tagula ate n’ab’omu nju ye, balya ne bakkuta.
Ekiteeso kya ssentebe Kamaadi abasinga baakiwagidde era ne bagamba nti omuntu alima emmere yeewonya bingi lwakuba abamu tebalina bibanja kwe balimira.
Ye kansala w’abavubuuka mu muluka guno Derick Nakibinge yagambye nti, abavubuka bangi baali balima naye nga bye balima bibbibwa, ne baggwaamu amaanyi.

Tags: