Gavumenti ya Uganda etadde ensimbi ezisoba mu bukadde 400 okuzimba ebizimbe mu masomera gaayo agasangibwa mu kibuga Mukono n’ekigendererwa eky’okwongera okutumbula omutindo gw’ebyenjigiriza mu kibuga kino.

Abakulembeze Nga Batema Evvuunike Ku Ssomero Lya Ssekiboobo Primary.
Agambye nti amasomero ebitundu 60 ku 100 mu munisipaali eno gakyalina obwetaavu bw’ebibiina olw’omujjuzo gw’abaana abagettanidde ennyo ensangi zino nga kw’ogasse n’ebizimbe eby’ebibiina ebyali byazimbibwa edda nga kati byetaaga okuddaabiriza olw’obulabe bwe birina eri abayizi.
Nassolo okwogera bino asinzidde mu kutema evvuunike ery’ebizimbe bino ku masomero gano n’alaga obwetaavu bwe bakyalina naddala ku nsonga y’ebbula ly’abasomesa mu masomero ga gavumenti okwetooloola disitulikiti yonna ekireeseewo omuziziko mu nkola y’abayizi mu masomero gano bw’atyo n’akubira minisitule y’ebyenjgiriza omulanga okubayambako mu nsonga eno.
Ono era agisabye okubayambako okutumbula essomo lya ssaayansi nga bateeka abasomesa abamala mu masomero ga siniya abasomesa ssaayansi.

Abakulembeze Ba Munisipaali Y'e Mukono Bwe Bababdde Nga Balambula Essomero Lya Lweeza Primary School.
Kyokka era ategeezezza ng’amasomero ag’obwannannyini agasoba mu 20 bwe gali mu katyabaga akokuggalibwawo omwaka ogujja olw’abagaddukanya okulemererwa okutuukiriza ebisaanyizo ebigatuukanya n’omutindo gw’ekibuga kino.
Awadde ensonga y’agamu okuba ng’abaana beefuutiika mu bibiina olw’okubulwa entebe, abamu okugateeka mu maka mwe basula, ebizimbe okukwata mu mbinabina n’ensonga endala era nga bannyini go ssinga banaalemererwa okukoseza oluwummula luno okugaddaabiriza gaakuggalwa mu bunnambiro ku ntandikwa ya ttaamu omuwaka ogujja.
Amyuka mmeeya wa munisipaali eno, Phoebe Faith Babirye eky’ebbula ly’abasomesa mu masomero ga gavumneti akitadde ku bbula ly’akakiiko aka disitulikiti akagaba emirimu n’ategeeza nga munisipaali bw’eri mu nteekateeka ey’okufuna akakiiko kaayo akagaba emirimu, okwekutula ku ka disitulikiti ke baalemwa okussaawo olw’entalo n’emivuyo.
James Mutyabule omuyambi w’omubaka wa pulezidenti ow’ekibuga kino asiimye gavumenti olw’enteekateeka eno era n’asaba abaaweereddwa omulimu gw’okuzimba ebizimbe bino okwewala okubizimba mu ngeri eya gadibe ngalye okwewala obubenje mu masomero.