ABATUUZE b’e Buggu zzooni e Busaabala abaamenyebwa NEMA eggulo baakedde kwemulugunyiza gavumenti obutayambibwa ku mayumba gaabwe agaamenyebwa.
Allen Kobusingye omu ku baamenyebwa agambye nti mu kiseera kino basobeddwa ate nga gavumenti erina ssente ez’ebigwa tebiraze nga basobola okubadduukirira, n’asaba ebitongole be kikwatako okuyambibwa okufuna we badda.
Wabula, bano bagamba gavumenti yalina okutunula mu nsonga zaabwe nga tennabagobaganya era ne wabaawo engeri gye baliyirirwamu.