Amawulire

Ababaddde bakedde okwekalakaasa olwa NEMA okumenya amayumba gaabwe bakwatiddwa

POLIISI okuva e Kibiri ng’eduumirwa OC waayo Elina Mutoni eyodde Abamu ku batuuze ba Buggu e Busaabala olw’okwekalakaasa.

Ababaddde bakedde okwekalakaasa olwa NEMA okumenya amayumba gaabwe bakwatiddwa
By: Benjamin Ssemwanga, Journalist @New Vision

POLIISI okuva e Kibiri ng’eduumirwa OC waayo Elina Mutoni eyodde Abamu ku batuuze ba Buggu e Busaabala olw’okwekalakaasa.

Omukazi nga bamulinnyisa kabangali ya poliisi oluvannyuma lw'okwekalakaasa.

Omukazi nga bamulinnyisa kabangali ya poliisi oluvannyuma lw'okwekalakaasa.

 

Bano bayooleddwa oluvannyuma lw’okukwatibwa nga bagenda ku wooteri ey’amaanyi ezimbibwa okuliraana okumpi ne biici ya Kkaazi nga bagamba nayo esaana okumenyebwa nga nabo we baamenyebwa.

Omu ku batuuze ng'alaajanira poliisi eyabadde emukutte ku by'okwekalakaasa.

Omu ku batuuze ng'alaajanira poliisi eyabadde emukutte ku by'okwekalakaasa.

Abatuuze balina okwemulugunya kwabwe eri NEMA bakedde kwemulugunyiza gavumenti obutayambibwa.

 

Bano bagamba nti baafuuka ababundabunda mu ggwanga lwabwe oluvannyuma lw’okumenyebwa nga tebakyalina we basula na kuliisiza abantu baabwe.

 

Allen Kobusingye, omu ku baamenyebwa agamba nti mu kiseera kino basobeddwa ate nga gavumenti erina ssente ez’ebigwa tebiraze nga basobola okubadduukirira.

Omuserikale ng'atwala omu ku baabadde beekalakaasa ku kabangali ya poliisi.

Omuserikale ng'atwala omu ku baabadde beekalakaasa ku kabangali ya poliisi.

Yasabye ebitongole be kikwatako okuyambibwa okufuna we badda. Emabegako ekitongole kya NEMA kyamenya abamu ku bantu abawangaalira mu Buggu abagambibwa okusenga mu kitoogo kino era ennyumba zaabwe ne ziggyibwamu.

 

Wabula, bano bagamba nti gavumenti yalina okutunula mu nsonga zaabwe nga tennabagobaganya era ne wabaawo engeri gye baliyirirwamu

 

Tags:
OC
Kukwatibwa
Poliisi
Kwekalakaasa
NEMA