Omu ku bantu abagambibwa okubeera amabega w'okunuuna amafuta mu bimotoka ebikola oluguudo lwa Matugga - Kira Rd, akwatiddwa poliisi.
Akwatiddwa ye Amos Tasamba era nga waliwo ne pikipiki bbiri okuli nnamba UFK 547 T tvs ne UFK 080B Bajaj boxer ezuuliddwa nga bigambibwa nti kw'atambuliza amafuta.
Mu birala ebizuuliddwa, mulimu empiira, ebidomola ebikalu ne kalonda omulala.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala agambye nti omuyiggo gw'okuzuula abalala, gugenda mu maaso.