Amawulire

Ababadde batambuliza ennyama egambibwa okuba enzibe mu kkutiya poliisi ebakutte

Abantu basatu abagambibwa okusangibwa n'ennyama erowoozebwa okuba enzibe, babakutte nga bagitambuliza mu kkutiya.

Ababadde batambuliza ennyama egambibwa okuba enzibe mu kkutiya poliisi ebakutte
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu basatu abagambibwa okusangibwa n'ennyama erowoozebwa okuba enzibe, babakutte nga bagitambuliza mu kkutiya.

 

Kino kiddiridde abatuuze okutemya ku poliisi olw'abantu bano abasatu ababadde basibye ennyama y'ente ennamba ku bodaboda kwe kuyita poliisi.

 

Abaakwatiddwa, kuliko Muhammed Luyombya 44, nga mulimi, Faizo Maganda 26 owa bodaboda ne Meddy Tamale 45 nga mutemi wa nnyama.

 

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti okunoonyereza n'okuzuula ente we baagibbye, kugenda mu maaso.

Tags:
Amawulire
Kkuyita
Poliisi
Kutambuza
Nnyama