Omwana ow'emyaka 5 agudde mu kinnya kya kazambi e Mbale n'afiiramu.
Poliisi ekutte nnyini kinnya kino olw'obulagajjavu n'alemwa okukibikkako okumala ebbanga.
Poliisi ekutte nnyini kinnya kino Kenneth Poya, ayambeko mu kunoonyereza ku ttemu lino era ng'omulambo poliisi eguggyeeyo ne bagutwala mu ggwanika ly'eddwaliro e Mbale okugwekebejja.
Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, asabye abantu abalina ebinnya bino, okubibikkako.