Amawulire

Ow'emyaka 52 gwe balumiriza okubba emboga bamukubye ne bamutta!

Bibadde ku kyalo Kantora mu muluka gwa Nyamabare mu ggombolola y'e Ikumba e Rubanda, bwe basse Wellen Gwahama 52 omutuuze w'e Kiringa mu muluka gwa Nyamabare nga bamulumiriza okusangibwa n'emboga enzibe mu kkutiya. 

Ow'emyaka 52 gwe balumiriza okubba emboga bamukubye ne bamutta!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu ababadde abakambwe, bakkakkanye ku musajja ow'emyaka 52 gwe balumiriza okubba emboga, ne bamukuba ne bamutta. 

 

Bibadde ku kyalo Kantora mu muluka gwa Nyamabare mu ggombolola y'e Ikumba e Rubanda, bwe basse Wellen Gwahama 52 omutuuze w'e Kiringa mu muluka gwa Nyamabare nga bamulumiriza okusangibwa n'emboga enzibe mu kkutiya. 

 

Poliisi ekutte Kenneth Akatuhurira, ayambeko mu kunoonyereza abo bonna, abatwalidde amateeka mu ngalo ne batta omuntu. 

 

Omwogezi wa poliisi e Kigezi , Nelson Tumushime, avumiridde ekikolwa ky'okutwalira amateeka mu ngalo. 

Tags:
Amawulire
Kutta
Mboga
Poliisi
Kulumiriza
Kubba