Amawulire

Omuchina agambibwa okuwamba ffamire ng'ayagala kugituusaako buvune asindikiddwa e Luzira!

Yin Yuan 37, omutuuze w’e Naguru mu diviizoni y’e Nakawa mu disitulikiti y’e Kampala ku bisulo bya Krish Rosette y’asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Rophine Achayo eyamusomedde emisango n’agyegaana.

Omuchina agambibwa okuwamba ffamire ng'ayagala kugituusaako buvune asindikiddwa e Luzira!
By: Harriet Nakalema, Journalist @New Vision

OMUCHINA agambibwa okuwamba ffamire asindikiddwa e Luzira oluvannyuma lw’okumusomera emisango 6 n’agyegaana.

 

Yin Yuan 37, omutuuze w’e Naguru mu diviizoni y’e Nakawa mu disitulikiti y’e Kampala ku bisulo bya Krish Rosette y’asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Rophine Achayo eyamusomedde emisango n’agyegaana.

Yin Yuan Mu Kaguli Ka Kkooti Nga Bamusomera Emisango.

Yin Yuan Mu Kaguli Ka Kkooti Nga Bamusomera Emisango.

Okusiinziira ku muwabi wa gavumenti mu musango guno,  kigambibwa nti nga May 9, 2026 ku kizimbe kya Pentagon mu Kampala, Yin yawamba maama Ruth Namulwana wamu n’abaana be babiri okuli Victor Treasure Mugwanya 7 ne Malcom Jireh Ssentongo 11.

 

Kigambibwa nti ono yabawamba n’abatwala mu kifo ekyekusifu mu bitundu by’e Kyambogo n'ekigendererwa ek’yokubatusaako obuzibu.

 

Oludda oluwaabi lugamba nti Yin yagenda ku kizimbe kya Pentagon ku dduuka erimu mu kizimbe ekyo gye yasanga Namulwana n’amubuuza ku bikwata ku mayitire ga bba we bwe baali bakola omulimu gwe gumu ogw’okutuunda engoye era nga kigambibwa nti bano baali bakolera wamu n’Omuchina ono.

 

Namulwana bwe yamutegeeza nga bwe yali tamanyi bba we gy’ ali,Yin yamulagira okuggalawo edduuka n’amuyingiza emmotoka omwali ddereeva eyali avugira ku mudumu gw’emmundu okukkakkana ng'amutuusizza awaka, kyokka bwe bataasangayo musajja yalagira Namulwana awambibwe ne batabani be.

 

Wabula, Namulwana yasobola okukubira omwami we n’amutegeeza ekyali kibatuusiddwako era amangu ddala poliisi yategeezezza Yin n’aggulwako emisango gy’okuwamba abantu kyokka mu maaso g'omulamuzi yagyegaanye.

 

Oludda oluwaabi lwategeezezza kkooti nga okunoonyereza mu musango guno bwe kuwedde n'asaba olunaku batandike okuwulira engeri Yin gye yazzaamu emisango gino.

 

Ono baamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa nga December 7, omusango lwe gugenda okutandika okuwulirwa.

Tags:
Omuchina
Ffamire
Kusindika
Kugambibwa
Kuwamba
Kwagala