Amawulire

Kkooti eragidde ssaluuni esasule obukadde 50 lwa kukwata mwana gwe baasiba enviiri akatambi ne bakawanika ku mukutu gwa Tiktok nga tebafunye lukusa

Kkooti eragidde ssaluuni esasule obukadde 50 lwa kukwata omwana gwe baali basiba enviiri akatambi ne bakateeka ku mukutu gwabwe ogwa tiktok nga tebafunye lukusa kuva wa muzadde we.

Kkooti eragidde ssaluuni esasule obukadde 50 lwa kukwata mwana gwe baasiba enviiri akatambi ne bakawanika ku mukutu gwa Tiktok nga tebafunye lukusa
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

Kkooti eragidde ssaluuni esasule obukadde 50 lwa kukwata omwana gwe baali basiba enviiri akatambi ne bakateeka ku mukutu gwabwe ogwa tiktok nga tebafunye lukusa kuva wa muzadde we.

 

Omulamuzi Bonny Isaac Teko alagidde ssaluuni ya Naalya Beauty Saloon ne bannannyini yo okusasula omwana Joan Kisakye gwe baasiba enviiri ne bamukozesa okulanga ssaluuni nga tebafunye lukusa lwa maama Sophia Dhatemwa.

 

Maama wa Kisakye ye yaawaba ngagamba balinyirira eddembe lyomwana eryobwanannyini nobutasasanya kufananyi mu lujudde.

 

Alagidde aba saloon okugyayo akatambi ku mikutu gyabwe mu nnaku 14 okuva lwawadde ensala. Dhatemwa yawaaba ng’agamba omwana we yatwalibwa omukozi  wa waka Gloria Kakwezi kyokka naye tebamutegeezaako ku by’okuteeka omwana ku mutimbagano.

 

Kyokka maama w’omwana bwe yalaba akatambi n’asaba abassaluuni bakaggyeyo ne beerema kubanga baali bakozesa omwana okulanga ng’ate tebafunye lukusa.  Abassaluuni baagaana okuggyayo akalango.

Tags:
Amawulire
Ssaluuni
Kkooti
Nviiri