Amawulire

Batandise okubuuliriza ku buwumbi 3 ezaabulankanye ku kitebe ky'Obusiraamu

OMULAMUZI wa kkooti ento e Mengo, Yunus Ndiwalana alayizza akakiiko k’abantu 5 akassiddwaawo okunoonyereza ku kubulankanyizibwa kw’ensimbi obuwumbi 3 n’obukadde 500, Gavumenti ze yasasudde ekitebe ky’Obusiraamu e Kampalamukadde mu ttaka ly’Abasiraamu e Mijeera mu disitulikiti y’e Nakasongola nga lya yiika nga 1,280. 

Batandise okubuuliriza ku buwumbi 3 ezaabulankanye ku kitebe ky'Obusiraamu
By: Disan Mutyaba, Journalist @New Vision

OMULAMUZI wa kkooti ento e Mengo, Yunus Ndiwalana alayizza akakiiko k’abantu 5 akassiddwaawo okunoonyereza ku kubulankanyizibwa kw’ensimbi obuwumbi 3 n’obukadde 500, Gavumenti ze yasasudde ekitebe ky’Obusiraamu e Kampalamukadde mu ttaka ly’Abasiraamu e Mijeera mu disitulikiti y’e Nakasongola nga lya yiika nga 1,280.

Hajji Muluubya

Hajji Muluubya

 

Bino biddiridde ekitebe ky’Obusiraamu ekya Uganda Muslim Supreme Council (UMSC) okuwummuza Ssaabawandiisi Hajji Abaas Muluubya okumala omwezi mulamba ku bigambibwa nti alina ky’amanyi ku kubulankanyizibwa kwa ssente zino.

 

 

Akakiiko akagenda okunoonyereza kakulirwa Maj. (rtd) Abubaker Kalume nga kaliko abalala bana: Dr. Adam Kibwanga, Dr. AbdulWahid Josiga, Sheikh Kassimu Kamugisha ne Hajji Yusuf Mayanja.

 

 

Akola nga Ssaabawandiisi wa UMSC ow’ekiseera Mohammed Aluma yagambye nti, akakiiko kaweereddwa wiiki bbiri okunoonyereza baweeyo lipoota ku binaaba bizuuliddwa.

Mufti Mubajje Bw'afaanana.

Mufti Mubajje Bw'afaanana.

Ensimbi zino zaayita mu Tropical bank kyokka ne ziggyibwayo mu ngeri etetegeerekeka. Maj. Kalume yagambye nti, omulimu baagutandikiddewo era n’awera nga bwe batagenda kuttira muntu yenna ku liiso. Yasabye yenna alina obujulizi ku nsimbi zino okubatuukirira.

 

 

Yakoowodde Munnamateeka Mustafa Sebakyaye ajje aweeyo obujulizi bwonna bw’alina mu kifo ky’okudda ku mikutu migattabantu. Sebakyaye gye buvuddeko yalumiriza Mufuti Mubajje nti ye yawa ebiragiro ku ngabanya ya ssente zino.

 

 

Akakiiko kaategeezezza nti, bagenda kunoonyereza ku bitongole ebyekuusa ku mivuyo gino omuli ekya Industrial and Commercial Holdings limited, Uganda Ranchers limited n’abantu ssekinnoomu, baveeyo ne lipoota ennambulukufu.

Tags:
Amawulire
Busiraamu
Kubulankana
Kutandika
Kubuuliriza