IRAN eyongedde okutaama bw’ekubye ennyonyi ya America eyeevuga yokka nga waakayita ssaawa busaawa nga bbomu zaayo ze yatega mu kagolomolo zimaze okutulika ne zikuba emmeeri z’amafuta nnya ezibadde zisalinkiriza okuyita mu kagolomolo.

Lockheed Drone Eyakubiddwa.
Ennyonyi eno ya bbeeyi nnyo, kubanga buli emu ebalirirwamu obukadde bwa ddoola mukaaga, nga mu za Uganda zibeera obuwumbi 25 n’obukadde 500.
Amagye ga Iran aga Iran Islamic Revolutionary Guards Corps (IGRC), gaagambye nti ennyonyi eno yabadde ekettera mu mazzi ga Persian Gulf, mu buvanjuba bw’akagolomolo k’e Hormuz.
Mu ngeri y’emu, emmeeri nnya ez’amafuta zaakutte omuliro ne zituntumuka mu kagolomolo, nga zigezaako okusalinkiriza okwewala emisanvu gya Iran gye yassaawo okuva olutalo lwayo ne America bwe lwatandika.
Akagolomolo k’e Hormuz kayitamu amafuta ebitundu 20 ku 100 agakozesebwa mu nsi yonna, era okuva Iran bwe yakaggala, amafuta gaalinnya mu nsi yonna, nga ne Uganda mw’ogitwalidde.
Omukutu gwa Tasnim News Agency gwagambye nti, emmeeri zino tekuli yakubiddwa butereevu, wabula zaatomedde bbomu Iran ze yayiwa mu mazzi, ng’ezitangira okuyitawo.
Mu ngeri y’emu, Iran ezze ekola obulumbaganyi ku nfo za America ez’enjawulo mu kyondo kya Buwarabu, naddala mu ggwanga lya Bahrain.
Pulezidenti wa America, Donald Trump yagambye nti, ennumba za Iran zeeyongedde mu wiiki bbiri eziyise, naye tebannafaayo nnyo kubanga tezirina kye zikosezza bintu bya America.
Sipiika wa Palamenti ya Iran Mohammad Baqer Qalibaf, yalabudde America nti kye kiseera eggyewo ekkoligo lye yassa ku myalo gya Iran, nga tekyasobola kutunda mafuta, kubanga essaawa yonna bagenda kwerwanako mu ngeri egenda okuba enkambwe ennyo.
Kinajjukirwa nti, Iran bwe yaggala akagolomolo k’e Hormuz, America nayo n’eggala emyalo gyayo kwe yatikkiranga emmeeri z’amafuta agagenda okutundibwa naddala mu ggwanga lya China, nga n’okutuusa olwaleero ekkoligo lino likyaliwo.
Qalibaf yagambye nti, Ayatollah yabalagidde okuggya Iran mu mbeera gye yayise “No war, No peace”, ekitegeeza embeera eteri ya lutalo ate nga si ya mirembe, era kye basigazza kwe kusiguukulula America ku kifuba.