Amawulire

Owa Bella Wine asiimye Vision Group nga twolekera Harvest Money

ENTEEKATEEKA z'omwoleso gaggadde ogwa Harvest Money ogutegekebwa kkampuni ya Vision Group (efulumya ne Bukedde) ogw’omulundi ogw’e 11 zitandise. Omwoleso guno gwakubeerawo okuva nga February 12-14, 2027 mu kisaawe e Kololo.

Owa Bella Wine asiimye Vision Group nga twolekera Harvest Money
By: Herbert Musoke, Journalist @New Vision

ENTEEKATEEKA z'omwoleso gaggadde ogwa Harvest Money ogutegekebwa kkampuni ya Vision Group (efulumya ne Bukedde) ogw’omulundi ogw’e 11 zitandise. Omwoleso guno gwakubeerawo okuva nga February 12-14, 2027 mu kisaawe e Kololo.

 

Wadde ng’abasinga bagenda mu mwoleso gwa Harvest Money kutunda na kugula byamaguzi n’obuweereza, abalala banona magezi okuva ku boolesi, emisomo egitegekebwa era buli omu afuna ekisinga.

Ukkonika (mu Ssaati Enzirugavu), Wanyama (mu Mpale Emmyuufu), Hope Nuwagaba (amuddiridde), Jacqueline Taweeka, Ne Lorrain Tukahirwa Aba Vision Group Ssaako Abakozi Ba K Roma Abalala.

Ukkonika (mu Ssaati Enzirugavu), Wanyama (mu Mpale Emmyuufu), Hope Nuwagaba (amuddiridde), Jacqueline Taweeka, Ne Lorrain Tukahirwa Aba Vision Group Ssaako Abakozi Ba K Roma Abalala.

Prudence Ukkonika, dayirekita wa K-Roma Company abakola Bella Wine ne Juice bwe yagambye bwe yabadde asisinkanye akulira kkampuni ya Vision Group, Don Wanyama ku kkampuni ye e Namanve mu kibangirizi kya bannamakolero. Baabadde bagenze kumusiima olw’okuwagiranga emyoleso gya Vision Group okuli Harvest Money Expo ne Bride & Groom.

 

“Ntambudde ne Vision Group emyaka mingi era okuva lwe nnatandika okwolesa mu Harvest Money, nasanyuka nnyo olw’obumalirivu bwa Bannayuganda abaguggyamu kuba bonna babeera balowooza bizinensi,” Ukkonika bw’agamba.

 

Agamba nti omwoleso guno, gussaawo omukisa eri abantu bonna abaliko bye bakola mu bulimi n’obulunzi, abasuubula ebikunguddwa, abatunda ebikozesebwa mu kulima n’okulunda, ebitongole by’okunoonyereza, ebibaga amateeka, ebyensimbi n’ebirala okuwuliziganya na buli omu okufuna ky’anoonya.

 

“Omwoleso gwa Harvest Money gwa njawulo ku myoleso egibaddewo kuba guleeta abantu abamanyi ekibaleese era ffe ng’aboolesa tuganyulwa nnyo kuba tufuna bakasitoma abatugulako ne bwe gubeera guwedde ne tusigala nga tufuna bizinensi omwaka gwonna,” bw’agamba.

 

Yakubiriza Bannayuganda obutasubwa mwoleso guno kuba eby’okuyiga ntoko era tewali asobola kugujjamu n’asigala kye kimu. K-Roma ekola wayini wa Bella ne juyisi okuva mu bibala nga emiyembe, hayibisikaasi, ebinyaanya, ennaanansi n’enkenene ng’agamba nti wadde Bannayuganda bettanira nnyo wayini avudde ebweru w’eggwanga, ebibala ebirimibwa mu Uganda bikola wayini asinga obulungi.

Tags:
Amawulire