BWANAMUKULU w’ekigo kya St. Joseph - Nansana, Msgr. Fr. Dr. Lawrence Ssemusu asabye Abakristu okwolesa omutindo mu buli kye bakola eri Katonda n’eri bantu bannaabwe.
“Mu kuweereza Katonda mu ngeri ey’enjawulo, kikulu nnyo okussaamu amagezi mu nkola y’ebintu. Klezia eno ekyazimbibwa wabula abaagitandika Katonda yaboolesa n’amagezi agasobozesa okweyambisa ekifo ekifunda kw’eri n’etuuza abantu wansi ne waggulu,” Msgr. Ssemusu bwe yagambye.
Ssaabakristu wa klezia eno, Paddy Tenywa, yagambye obukadde 89 ezaabadde zeetagibwa zaasondeddwa ne ziyitamu nga zaakung’aaziddwa mu bubondo obw’enjawulo. Fr. Joseph Lubega yagambye nti klezia yamala dda okulangirirwa okufuuka ekigo ng’erindiridde kugimaliririza.