OKUZIMBA ebibiina ku masomero 3 agali mu mbeera embi e Mukono kutandise nga Gavumenti enteekateeka eno egitaddemu obukadde 400.
Avunaanyizibwa ku byenjigiriza mu munisipaali y’e Mukono, Faridah Nassolo ye yatemye evvuunike omulimu ne gutandika mu butongole era yannyonnyodde nti amasomero 60 ku 100 mu munisipaali eno gakyalina obwetaavu bw’ebibiina olw’omujjuzo gw’abaana abageettanidde nga kw’ogasse ebizimbe by’ebibiina ebyazimbibwa edda nga kati byetaaga kuddaabiriza.
Nassolo yalaze obwetaavu bwe balina naddala ku bbula ly’abasomesa mu masomero ga Gavumenti okwetooloola disitulikiti ekireeseewo omuziziko mu nkola y’abayizi mu masomero gano n’akubira minisitule y’ebyenjgiriza omulanga okubayambako.
Amyuka meeya wa munisipaali eno, Phoebe Faith Babirye eky’ebbula ly’abasomesa mu masomero ga Gavumenti yakitadde ku kakiiko ka disitulikiti akagaba emirimu akataliiwo n’ategeeza nga munisipaali bw’eri mu nteekateeka ey’okufuna akakiiko kaayo akagaba emirimu okwekutula ku ka disitulikiti ke baalemwa okussaawo olw’emivuyo.
James Mutyabule, omuyambi wa RDC ow’ekibuga kino, yasiimye Gavumneti olw’enteekateeka eno n’asaba abaweereddwa ogw’okuzimba ebizimbe bino okwewala okukola gadibe ngalye.