TAATA agambibwa okukkakkana ku baana be ababiri n'abakuba n'abatta ng'abateeberezza okubba ebintu mu dduuka, poliisi emukutte.
Kigambibwa nti yabakubye ku Mmande ng'abalumiriza okubba ebintu okuva ku dduuka nti era omu n'amuttirawo omulala n'afiira mu ddwaaliro e Mulago.
Kitegeezeddwa nti yeekobaanye ne munne Majid Matabalo ne bapakira omulambo gw'omwana ow'emyaka 15 mu mmotoka ekika kya Harrier nnamba UAX 274 K ne bagutwala e Lugalambo -Kololo mu Mabira Forest, omulambo ne bagusuulira nnyina.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, alabudde abazadde okukomya ebikolwa by'okutulugunya abaana.