OMULAMBO gw'omuwala ateeberezebwa okubeera mu myaka nga 20, guzuuliddwa ku kyalo Kirinda cell mu muluka gw'e Kasega mu ggombolola y'e Kapeke e Kiboga, ng'asaliddwa obulago nga n'amabeere gombi, abatemu bagatutte.
Ategeezezza ssentebe wa LC1 mu kitundu, Godfrey Ssegawa ne baliraanwa, ne bayita poliisi egenze n'embwa naye nga terina kya maanyi, ky’ezudde.
Obulago bubadde busaliddwa nga n'amabeere gombi gasaliddwako nga bamutadde n'eddagala mu bitundu bye ebyekyama nga kirowoozebwa nti baamusaddaase.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, ategeezezza nti omulambo , bagututte mu ggwanika ly'eddwaaliro e Kiboga era n'asaba abo abayinza okuba nga baabuliddwako omuntu waabwe, okutuukirira poliisi mu kunoonyereza okugenda mu maaso.