MINISTA w'eby'obulambuzi mu ggwanga, Tom Butime akubirizza bannabizinensi n'abakola emirimu egy'enjawulo okweteekateeka nga bukyali basobole okuganyulwa mu mpaka za AFCON .
Agambye nti empaka zino Uganda z'egenda okutegekera awamu ne Kenya ne Tanzania zigenda kuleeta abagenyi nkumi na nkumi mu ggwanga nga anaabeera yeteeseteese obulungi y'ajja okusobolera ddala okweyoolera ssente okuva mwebyo by'ajja okuguza abagenyi.

Minisita w'Ebyobulambuzi Tom Butime bwe yabadde awayaamu ne Nnalulungi w'ebyobulambuzi mu ggwanga

Minisita okukola okusaba kuno yabadde atongoza omwoleso gw’eby’obulambuzi ogw'omulumdi ogwe 11 ogwa Pearl of Africa Tourism Expo, wamu n’omwoleso gw’eby’obulambuzi ogw’ekibiina ky’amawanga g’obuvanjuba bwa Afrika ogw’omulundi ogw’okuna.
Emyoleso gino gyakubeerawo wakati wa nga May 6 ne 8 mu 2027, ku Speke Resort e Munyonyo, nga gigendereddwaamu okusikiriza abalambuzi, bannannyini bizinensi ne bamusiga nsimbi mu by’obulambuzi.

Akulira ekitongole kyebyobulambuzi ekya UTB Juliana Kaggwa ku mukolo gw'okutongoza emyoleso gy'ebyobulambuzi
Ate akulira ekitongole kya Uganda Tourism Board, Juliana Kaggwa, yagambye nti omwoleso guno baakugweyambisa nnyo okutumbula empaka za AFCON, okusobola okwongera okumanyisa ensi yonna ebirungi Uganda by’erina.