Gavumenti eragidde Bamusigansimbi abazimba Woteeri okukasanga nga zituukana n'omutindo gw'Ensi yonna nga emu ku ngeri y'okutumbula eby'obulambuzi mu Ggwanga.
Ekiragiro kino kiyisiddwa Minisita w'eby'Obulambuzi Tom Butime bw'abadde aggulawo Omwoleso gw'Eby'obulambuzi ogwatuumiddwa Pearl of Africa Tourism Expo 2023 e Munyonyo.

Sudhir ng'ali ne banne mu lukung'aana lw'abannannyini Wooteeri
Minisita Tom Butime bw'abadde atongozza Omwoleso guno ogw'okumala ennaku Ssatu nga gubumbujja agambye nti omwoleso guno gugendereddwamu okwongera okutumbula eby'obulambuzi ku lukalo lwa Africa nga wano w'asinzidde n'ajjukiza Bannayunda abazimba Woteeri ezisuza Abalambuzi okukakasa nti bazimba Woteeri ezituukana n'omutindo gw'Ensi yonna.
Mu ngeri y'emu Minisita Tom Butime ategeezezza nti ekola butaweera okulabanga Abalambuzi abajja mu Ggwanga bagenda butereevu mu bifo gyebaba baagala okulambula awatali kusooka kugwa ku kisaawe Entebe nti era ebisaawe by'Ennyonyi eby'enjawulo byakuterezebwa nga Pulezidenti bweyalagidde