Amawulire

Balaze kkooti obutambi bwa Kamugisha ng’annyonnyola bwe yatta Natukunda

EGGULO omusango gw’ettemu ly’e Masaka gwawuliddwa olunaku olwokusatu mu lujjudde. Omujulizi w’oludda oluwaabi, owoomusanvu nga ye D/C Kica Joshua 29, yaleese obutambi bwe yakwata Kamugisha ng’annyonnyola engeri gye yaluka pulaani y’okukola ettemu lino, n’ettemu eddala.

Abantu mu kkooti baawuniikiridde nga balaba vidiyo nga Kamugisha yeewaako obujulizi.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EGGULO omusango gw’ettemu ly’e Masaka gwawuliddwa olunaku olwokusatu mu lujjudde. Omujulizi w’oludda oluwaabi, owoomusanvu nga ye D/C Kica Joshua 29, yaleese obutambi bwe yakwata Kamugisha ng’annyonnyola engeri gye yaluka pulaani y’okukola ettemu lino, n’ettemu eddala.
Kica muserilale wa poliisi ya Nyendo -Mukungwe.

Muwaganya: Wakola ki mu musango guno?
Kica: Nakwata obutambi ng’omuwawaabirwa tumuzzizzaayo mu kifo gye yaddiza omusango. (Scene reconstruction), ne nkola n’ebbaluwa ey’okwekebejja.
Muwaganya: Tubuulire ebyaliwo.
Kica: Twatandikira ku poliisi e Nyendo awaali omusibe, n’atutwala mu kabuga e Lukaya Trading Center mu kifo we yasimba ppiki ye, bwe yali tannagenda ku Class Bar and Guest house.
Muwaganya: Yali akozesa lulimi ki ng’abanyumiza?
Kica: Yali akozesa Luganda.
Muwaganya: Wamukwata otya obutambi buno?
Kica: Nakwatanga buli kifo ne nnyimirizaamu, bwe tugenda awalala ne nkwata era nalina okubugatta wamu.
Muwaganya: Obutambi wabuteeka wa ne lipooti?
Kica: Nabiwa eyakuliramu okunoonyereza, Ojuk Livingstone.
Muwaganya: Lwaki obutambi wabuwa Ojuk, ng’ate olina ne kkopi endala.
Kica: Nawaayo kkopi ya ‘flash’.
Muwaganya: Lipooti gye wakola ogirabira ku ki?
Kica: Nassaako omukono gwange, era nabiteeka wamu ne memory card. Muwaganya (amuwa ebiwandiiko)
Kica: Eno lipooti gye nakola, flash disk eriko obutambi bwe nakwata nga tebunnagattibwa, n’obulala nga bugattiddwa.
Muwaganya: Laga kkooti flash ne memory card.
Kica: (alaga kkooti )
Muwaganya: Tusaba kubissaayo ng’ebizibiti (flash, memory card ne lipooti).
Omulamuzi: Waliwo awakanya?
Ba looya ba Kamugisha: Tewali oweekitiibwa.
Omulamuzi: Biteereddwaayo ng’ebiziti.
(Baataddeko olutimbe okuzannya obutambi)
Kamugisha mu katambi annyonnyola nti nga September 27, 2026 yagenda ku kifo ekya Class bar and Guest House n’asangawo abawala bangi kyokka n’asiimako Jackline Natukunda n’amusuubiza okumuwasa kubanga yali talina mukazi.
N’omuwala yamutegeeza nti talina musajja okuggyako ba ‘boyfriend’ abajja ne basasula okwebaka naye. Ku olwo yamulekera 20,000/- n’amusuubiza okumugulira essimu olwo amuteeke mu maka ge. Yamusuubiza okudda amutwale afuuke mukyala we.
Akatambi kalaga Kamugisha ng’annyonnyola nti byonna yabisuubiza omuwala ng’amusendasenda amukkirize olwo amusaleko omutwe agutwalire omusawo w’ekinnansi, Kyambadde Huzairu eyali agumutumye.
Kamugisha annyonnyola nti yakomawo enkeera nga September 28, 2026 okutwala Natukunda awaka afumbe. Akatambi kalaga ng’alaga abaserikale we yagula gonja, enkoko ne soda bye yawa Natukunda n’agattako nti era baanywamu ne ku mwenge olwo ne batuula ku bodaboda ne beggyawo.
Akatambi kalaga Kamugisha ng’alaga bwe yaleka omuwala ku ppiki olwo n’amutegeeza nti k’asooke yeeyambe, kumbe yali aggyayo jjambiya mu mpale mwe yali agiwagise.
Nti yakomawo n’ategeeza Natukunda nti basooke beesanyuseemu awo mu kasiko olwo bagende awaka beemale eggoga.
Yagamba nti omuwala bwe yakutama okuggyamu engoye, Kamugisha kwe kuggyayo ejjambiya n’amutemako omutwe, ne kugwa wali. Bino abyogera nga bw’asonga ku kifi awali ebitaba by’omusaayi ebyali bikaliridde w’agamba nti we yamusalira. Ekiwuduwudu yasooka n’akireka awo ku lusozi olwo n’atwala omutwe awalala gye yagusuula.
Ku lusozi olwo Kamugisha yagamba nti yali atera okugendayo n’asaddaakira emmandwa ze ng’aleeta amazzi, emmwaanyi n’azigabula.
Mu katambi era Kamugisha ategeeza nti mu 2023 yali mu Kikajjo e Kampala n’afunayo omuntu gwe yatta era Kyambadde ye yali amutumye nga yamusasula emitwalo 70. Nti yafuna omuntu gwe yawa ssente n’afuna omusajja n’amumuleetera n’amutta.
Nga August 5, 2026 e Sanga nti Kamugisha yakkaanya n’omusawo w’ekinnansi Matovu nti aleete omutima gw’omuntu okufuna obugagga. Nti eyo yagenda n’atta omuwala n’amuggyamu omutima gwe yatwala era yalyako katono ekitundu ekirala omusawo n’akikozesa mu ddagala lye yamunaaza.
Kamugisha yagamba nti omuwala Natukunda teyalwana kubanga teyamanya nti bagenda kumutema era teyafunamu kwekengera kwonna. Agamba okusooka yali talya bantu naye omusawo w’ekinnansi Matovu ye yamussaako ekintu ekyo nga kati atuuka ekiseera n’awulira ng’ayagala kulya muntu kyokka ne ssente tafuna nnyingi kubanga z’alina zimumala kulyako buli.
Bakira amannya g’omuwala agira bw’amuyita Natukunda ate n’amuyita Ankunda. Yagamba nti ebigere yabitwala n’abirya ate ebimu yabisuula ndowooza embwa ne zibirya.
Bwe baava eyo yabatwala awaka we okubalaga ekikooti kye yalimu oluvannyuma n’abatwala gye yasuula omutwe gw’omukazi.
Nga batuuse gye yasuula omutwe, yagamba abaserikale nti omutwe bwe yagusuulawo, yadda enkeera alabe oba weeguli kyokka teyagusangawo era n’avuga ppiki ye n’agenda ng’ebyokuguggyawo byonna teyabimanya.
Bino obwedda biragibwa ng’abantu bwe beesooza mu bulumi n’ennyiike era abamu baalabiddwaako nga booza ku mmunye.
Akatambi ne lipoota ya Kica byaweereddwaayo ku kkooti ng’ebizibiti. Alipoota yaweereddwaayo ng’ekizibiti.
OMUJULIZI OWOOMUNAANA
Juliet Naiga musunsuzi w’amawulire era avvuunula ng’azza mu Luganda mu kitongole kya UBC okumala emyaka 10 kati. Nzivuunula luzungu n’Oluganda.
Muwaganya: Ojja otya okukola emirimu gy’okukyusa ku UBC??
Naiga: Maneja y’ampa emirimu egyo.
Muwaganya: Mufuna mutya okusaba okwo?
Naiga: Okusaba okwo kujja mu buwandiike okuva mu bitongole.
Muwaganya: Lipoota ezikuweereddwa ozimanyi?
Naiga: Esooka etusaba kukyusa okuzza mu luzungu ku fayiro nnamba Nyendo CRB 632/2026, twagifuna nga October 30, 2026.
Muwaganya: Yali esaba ki?
Naiga: Yali esaba okukyusa n’okuwandiika akatambi ak’eddakiika 45 ne sikonda 43 ku flash eyali eya 32gb okubiggya mu Luganda nga bizzibwa mu luzungu.
Muwaganya: Wakola mulimu ki?
Naiga: Nalina okuwandiika kigambo ku kigambo nga bwe byali byogerwa oluvannyuma mbizze mu luzungu. Bwe namala, nabiweereza maneja.
Muwaganya: Lwaki wabiwa maneja?
Naiga: Nkola yaffe bw’omala okukola omulimu ogwakuweeredwa oguzzaayo ewa mukama wo, abiyiseemu era bw’amala n’abikuddiza.

Tags: