EYALI MINISITA Alintuma Nsambu agenze e Mengo n'akuba amavi olw'ebigambo ebityoboola Ssaabasajja Kabaka bye yayogera emyaka 16 egiyise.
Nsambu nga mu kiseera kino Mubaka wa Uganda mu Algeria, agenze e Mmengo n'asisinkana Katikkiro Peter Mayiga n'abakungu ba Kabaka ne yeeyama nti talikiddamu obulamu bwe bwonna okwerijjira ku Ssaabasajja kubanga amaze emyaka egisoba mu 15 nga tateredde.
"Ntuusa okwetonda kwange eri Kabaka wange", Nsambu nga ye bba wa Minisita omubeezi ow'ebyobulambuzi Suzan Nakawuki Nsambu bwe yayogedde mu buwombeefu mu maaso ga Katikkiro Mayiga.
Ebigambo bya Nsambu (Bukedde yasazzeewo obutabiddamu) olw'engeri gye byali birengezza Namulondo). Yabyogera mu 2010 bwe yali anoonya akalulu k’okumuzza mu Palamenti okukikkirira Bukoto East e Masaka. Akalulu ako, Munna DP mu kiseera ekyo Florence Namayanja (Kati meeya w’ekibuga Masaka) yakawangula. Ebigambo bye bimu kigambibwa byamuleetera akabasa mu kuddamu okulonda mu kalulu ka Bukoto South mu 2012 n’awangulwa kati omugenzi Mathias Nsubuga Birekerawo nga mu bululu bwonna abantu baamulaba ng’atayagala Bwakabaka.
“Ssaabasajja namusaba nti musajja wo Alintuma Nsambu ayagala kujja kwetonda olw’ebigambo ebyayogerwa e Masaka eyo n’ambuuza nti ye yazze ku lulwe oba gwe wamuyise. Ne mmugamba nti aaa... ye yazze ku lulwe n’agamba nti oba yasazeewo okujja, ajje ekyo kirungi,” Mayiga bwe yayogedde.
Katikkiro yayongeddeko nti amangu ddala ng’afunye okusiima kwa Kabaka, yategeerezzaawo Nsambu nga Kabaka bwe yasiimye ajje atuuse okwetonda mu buntu kubanga yali yasaba Katikkiro nti awulira ayagala afune omwaganya ajje atuuse okwetonda eri Kabaka n’Obwakabaka okutwalira awamu.
“Nali nasaba dda okujja okweyanjula gy’oli (eri Katikkiro) okutuusa eddoboozi lyange n’okusaba okulung’amizibwa ng’omwana wa Buganda addayo eri bakulu be. Leero nnyimiridde wano n’omutima ogujjudde okwebaza naye era n’obwetoowaze,” Amb. Nsambu bwe yayogedde.
Nsambu yagambye nti yayagadde n’okukozesa omukisa guno ogw’okukkirizibwa okujja e Mmengo okwetonda olw’okulwawo okutuuka embuga n’obutakola byonna bye yali ateekeddwa okukola mu kiseera ebigambo ebyo we byagwirawo ate n’okukolera eggwanga lye Buganda.
E Mmengo, Nsambu yawerekeddwaako maama we amuzaalira ddala Josephine Nantume, Ow’essiga Malinzi e Mikoni- Kitengesa, Masaka- Buddu mu Kika ky’Enseenene Charles Kizza Malinzi, Katikkiro w’Omutuba gwa Kyasi e Kyantale- Kyanamukaka- Buddu, Julius Mwebwe, Omwami wa Kabaka ow’eggombolola Ssaabagabo Kyanamukaaka Kajjerero Hajji Zakaria Ssali, Richard Mugalula Ttakalirya; Katikkiro w’Omutuba gwa Nnaggulumbya e Nkuke- Kyanamukaaka, Masaka nga guno Omutuba, Nsambu mw’ava ate ne Tibursious Ssendawula, akulira emirimu ku Wendi faamu n’abalala bangi.
Nsambu oluvannyuma yaguze satifikeeti ya 1,000,000/- okuwagira emirimu gy'Obwakabaka n'aleeta n'ebintu ebikalu eri Katikkiro.