OMUNTU omu afiiridde mu kabenje akagudde e Buhweju n'omulala omu n'agendera ku bisago mmotoka bw'eremeredde dereeva n'egwa ne yefuula emirundi egiwerako .
Akabenje kabadde ku kyalo Misana ku luguudo oluva e Nsiika okudda e Bwizibwera, mmotoka nnamba UBQ 335U Canter , bw'egudde n'etta Felix Tumuhimbise 49 omutuuze w'e Nyarumbora mu Ggombolola y'e Buhunga mu disitulikiti y'e Buhweju.