MINISITA w'ebyamasanyalaze n'obugagga obw'omuttaka,Dr. Diana Musenero asabye kkampuni ezaweebwa obuvunanayibwa bw'okusima amafuta ge ggwanga okwesiga kkampuni za Bannayuganda baziwe emirimu eginaaziyamba okufuna ssente ezinaazikulaakulanya n'okuvuganya obulungi ne zinnaazo eziva ebweru w'eggwanga.
Ono era azisa okuzisasula ssente ze mirimu gye zinabeera zikoze mu budde zizeeyambise mu kutwaala ebyenfuna by'eggwanga mu maaso.
"Mulekeraawo okwekwasa nti kkampuni za Bannayuganda tezirina bukugu n'obusobozi okukola emirimu egyenjawulo mu kitongole kya mafuta ga Uganda ng'ate temuziwadde mukisa okubulaga," bwatyo Musenero bwe bwategeezeza ng'awa obubaka bwe obuggudewo olukungaana lwa mafuta olutegekeddwa n'ekigendererwa kyokutema empenda kungeri kkampuni ezaweebwa obuvunaanyibwa bw'okusima amafuta ge ggwanga gye zigenda okuyamba eza Bannansi okwongera okufuna emirimu mu kitongole kya mafuta.
Mu lukiiko luno oluli ku wooteri ya Mestil, Monica mwasabidde kkampuni okuli Total Energies EP Uganda, China National Offshore Oil Company ,CNOOC ne Uganda National Oil Company Ltd, okuwa eza Bannansi emirimu okuyamba eggwanga okuganyulwa mu mafuta gaalyo.
Olukiiko luno lwetabiddwaamu, abakungu okuva mu kkampuni zino okubadde Zhao Xiaoyun,akulira ebyensimbi mu CNOOC, John Bosco Habamugisha, amyuuka akulira kkampuni ya East African Crude Oil Pipeline , Micheal Ochan Otonga,akulira eya Petroleum Authority of Uganda _PAU n'abalala,abeebaziza gavumenti olw'okubawa omukisa okukola emirimu gy'okusima amafuta ga Uganda n'okubalungamya kungeri entuufu ey'okugasimamu gasobole okugasa eggwanga.