Amawulire

Poliisi ezudde abaana 2 abaali baabula omulundi ogumu e Nansana

Abaana bano abawala , okuli ow'emyaka 3  n'esatu ekitundu, baabula nga Nov 22  okuva e Katooke A zzooni e Nansana mu Wakiso, bwe baali bazannya ne bannaabwe, kuliko Mary Genius Kyazike ne Hailey Kwagala .

Poliisi ezudde abaana 2 abaali baabula omulundi ogumu e Nansana
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abaana ababiri ababadde banoonyezebwa abazadde ne poliisi oluvannyuma lw'okubula, poliisi ebazudde e Nansana.

Omu ku baana eyali yabula

Omu ku baana eyali yabula

Abaana bano abawala , okuli ow'emyaka 3  n'esatu ekitundu, baabula nga Nov 22  okuva e Katooke A zzooni e Nansana mu Wakiso, bwe baali bazannya ne bannaabwe, kuliko Mary Genius Kyazike ne Hailey Kwagala .

Bbebi omulala eyali yabula

Bbebi omulala eyali yabula

Abaana bano babadde banoonyezebwa era ne baalangibwa ne ku Gataaliko Nfuufu kyokka baabakukunudde Kasengejje mu Wakiso nga balamu bulungi okusinziira ku Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala.

Tags:
Nansana
Katooke
Nabweru
Baana
Kubula
Kunoonyezebwa