Amawulire

Abagambibwa okutta omukazi omulambo ne bagusuula mu kalittunsi embwa ya Poliisi ebakutte

ABANTU babiri abagambibwa okutta omukazi ow'emyaka 68 omulambo ne bagusuula mu nnimiro ya kalittunsi ku kyalo Kandekye embwa ya poliisi e Bushenyi e bakutte.   

Abagambibwa okutta omukazi omulambo ne bagusuula mu kalittunsi embwa ya Poliisi ebakutte
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU babiri abagambibwa okutta omukazi ow'emyaka 68 omulambo ne bagusuula mu nnimiro ya kalittunsi ku kyalo Kandekye embwa ya poliisi e Bushenyi e bakutte.

Kidiridde abatemu okubuzaawo Edrai Kentayomba 68 omutuuze w'e Kandekye , Rutooma ward mu Rwentuha t/c e Bushenyi ku Mmande ekiro , omulambo ne baguzuula ku Lwokusatu. Abakwatiddwa ye  Justus Namanya ne Stanley Kamanzi.

Kigambibwa nti omugenzi yabuziddwawo okuva mu kabuga k'e Kandekye era nga kisuubirwa nti yabadde ne ssente nyingi ku luwuzi mu kiwato nga kirabika baazimubbyeko oluvannyuma ne bamutta.

Omwogezi wa poliisi e Bushenyi, Gerald Byamugisa ,agambye nti omu ku bakwate, Namanya, yakomyewo ne ssente nga nnyingi ate ng'aliko ebinuubule ku mikono ekyawalirizza bakozi banne ku faamu ya Muramira okumwekengera nti kyokka n'abulawo.

Oluvannyuma, baatemezza ku poliisi eyatutte embwa n'emuyigga n'ebamukwatira e Nyakambu mu Masheruka t/c ne munne

Tags: