Amawulire

ABASUUBUZI bataano abagambibwa okubaako kye bamanyi mu kujingirira ebigimusa bakwatiddwa

ABASUUBUZI bataano abagambibwa okubaako kye bamanyi mu kujingirira ebigimusa ne babiguza abalimi okuva mu container village mu Kampala, bakwatiddwa poliisi.

ABASUUBUZI bataano abagambibwa okubaako kye bamanyi mu kujingirira ebigimusa bakwatiddwa
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABASUUBUZI bataano abagambibwa okubaako kye bamanyi mu kujingirira ebigimusa ne babiguza abalimi okuva mu container village mu Kampala, bakwatiddwa poliisi.

Abakwatiddwa , poliisi egaanyi okuboogera amannya kuba kino, nti kiyinza okutaataganya okubuuliriza kwayo era nga bonna , bakuumirwa ku poliisi ya CPS ng'abakugu bwe bagenda mu maaso n'okwekebejja ebigimusa bino.

Kigambibwa nti bano babadde bacupula ekigimusa ekika kya Di-Grow Foliar era ng'abakampuni ekifulumya aba Dynapharm ku Kamu plaza Ntebe rd, be baasoose okwemulugunya ku poliisi.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, agambye nti ebizibiti bye basanze n'abasibe, babikuumira ku CPS nga byakuwerezebwa mu bakugu okubyekebejja n'okuzuula wa abasuubuzi gye babiggya n'okubikolera.

Tags: