ABASUUBUZI bataano abagambibwa okubaako kye bamanyi mu kujingirira ebigimusa ne babiguza abalimi okuva mu container village mu Kampala, bakwatiddwa poliisi.
Abakwatiddwa , poliisi egaanyi okuboogera amannya kuba kino, nti kiyinza okutaataganya okubuuliriza kwayo era nga bonna , bakuumirwa ku poliisi ya CPS ng'abakugu bwe bagenda mu maaso n'okwekebejja ebigimusa bino.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, agambye nti ebizibiti bye basanze n'abasibe, babikuumira ku CPS nga byakuwerezebwa mu bakugu okubyekebejja n'okuzuula wa abasuubuzi gye babiggya n'okubikolera.