ABASUUBUZI bafunye ku buweerero, Gavumenti bw’ekoze ku zimu ku nsonga ezibanyiga ezaabatuusizza n’okuggala amaduuka gaabwe.
Katikkiro wa Uganda, Robina Nabbanja yayise abakulembeze b’abasuubuzi n’akulira URA, John Musinguzi mu lukiiko olw’amangu ku ofiisi ye mu Palamenti n’abanjulira ebyasaliddwaawo olukiiko lwa Baminisita olwatudde ku Mmande.
ABASUUBUZI BASANYUFU N’EBIRAGIRO BYA PULEZIDENTI
Bino abasuubuzi baabisanyukidde era Hajji Kamadi Ssimbwa, asuubula engoye empya ku Nabugabo yategeezezza nti; “Tuli basanyufu olw’okuyimiriza omusolo gwa kkiro kuba gubadde gwatufuukira ekizibu”. Yasabye pulezidenti n’ensonga endala omuli eya ‘values’ ezikyali waggulu n’endala nazo zikolweko.
Ate Ibrahim Sseruyange ne Arion Kayongo, abakolera ku kizimbe kya Freedom Center, ku nsonga ya ‘values’ bagamba nti okusigalayo ku bitundu 35, Gavumenti eba tennakkakanya ku misolo ku ngoye.
Abalala okwabadde Muhammad Kasamba, akolera ku City Base (eyali Mukwano Arcade) ne Harriet Namukasa, atunda gomesi ku kizimbe kya Magoba, nabo beebazizza Gavumenti olw’okubawonya engassi ne fayini, URA zeebadde ebabinika. Kyokka ne basaba pulezidenti ateeke ebiragiro bye yayisizza mu buwandiike, kibayambe okweyambisa ebiwandiiko bye ku URA.
“Twagala Gavumenti ekole ne ku nsonga endala omuli eya EFRIS n’abaserikale ba URA abawamba emmaali olw’ensonga ez’enjawulo,” Haniphah Namuwonge, omu ku basuubuzi ba gomesi mu Magoba Arcade bwe yategeezeza.
Bino we bijjidde ng’abasuubuzi baakamala okwekalakaasa olw’ensonga ez’enjawulo ekyawaliriza Pulezidenti okulagira Katikkiro okuyingira mu nsonga zaabwe abayambe okuddamu okutambuza emirimu gyabwe. Era ebyavudde mu nteekateeka ya Katikkiro, bye bituusizza abasuubuzi okufuna ku buweerero.
Akulira URA akkirizza ebisaliddwaawo
Akulira URA, John Musinguzi eyabadde mu lukiiko lwa Nabannja yeeyamye okuteeka mu nkola ebyayisiddwa kabineti. “Tujja kugoberera ebyayisiddwa kabineti era tuteeke mu nkola bye yalambise,” Musinguzi bwe yategeezezza.URA EYISE ABASUUBUZI
Mu nteekateeka ey’okussa mu nkola ebisaliddwaawo n’okumalawo obugulumbo wakati waayo n’abasuubuzi, URA eyise abasuubuzi n’abakulembeze baabwe mu lukiiko enkya ku Lwokutaano.
URA egenda kuwuliriza okwemulugunya kw’abasuubuzi, okuwuliriza ensonga ezikyabasoomooza n’okukubaganya ebirowoozo ku ngeri y’okuzigonjoola.
ABAKULEMBEZE NABO BOOGEDDE KU BIRAGIRO BYA KABINETI
Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasuubuzi ba UATEA, Edward Ntale, asabye Gavumenti okugenda mu maaso n’okukendeeza ku miwendo (values) egy’enjawulo egikozesebwa URA okubala emisolo ku bintu ebiyingizibwa mu ggwanga.
“Bw’oggyawo omusolo gwa kkiro, kyokka n’oleka ‘values’ nga zikyali waggulu, kumpi obeera tolina ky’okoze kuba emisolo ku bintu ebiva ebweru w’eggwanga giba gukyali waggulu,” Ntale bwe yategeezezza