Amawulire

Abasuubuzi balidde; Gavt. eyimirizza omusolo gwa kkiro

ABASUUBUZI bafunye ku buweerero, Gavumenti bw’ekoze ku zimu ku nsonga ezibanyiga ezaabatuusizza n’okuggala amaduuka gaabwe.

Katikkiro wa Uganda, Robina Nabbanja ng’ayogera n’abakulembeze b’abasuubuzi ne URA.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABASUUBUZI bafunye ku buweerero, Gavumenti bw’ekoze ku zimu ku nsonga ezibanyiga ezaabatuusizza n’okuggala amaduuka gaabwe.
Katikkiro wa Uganda, Robina Nabbanja yayise abakulembeze b’abasuubuzi n’akulira URA, John Musinguzi mu lukiiko olw’amangu ku ofiisi ye mu Palamenti n’abanjulira ebyasaliddwaawo olukiiko lwa Baminisita olwatudde ku Mmande.

Bino Nabbanja bye yalangiridde:
l Omusolo ogubadde gusoloozebwa ku buli kkiro y’engoye eziva ebweru (weight-based tax) guyimiriziddwa okumala emyezi esatu ng’enteesaganya bwe zigenda mu maaso.
l Emigugu gy’abasuubuzi egibadde gisibiddwa ku bbaasi eziva e Kenya n’amawanga ageetoolodde Uganda egyali gyawambibwa URA gyonna Gavumenti esazeewo giddizibwe abasuubuzi awatali kakwakkulizo.
l Konteyina ezaali ziteekeddwaako envumbo nazo Gavumenti eragidde URA okuziddiza bannannyini zo.
l Engassi ezibadde ziteekeddwa ku migugu egy’enjawulo egibadde mu mikono gya URA nazo ziggyiddwaawo.
Bino Katikkiro Nabbanja yabyanjulidde abakulembeze b’abasuubuzi akwabadde akulita KACITA, Hajji Issa Sekitto, akulira FUTA, John Kabanda n’abalala.
Nabbanja yababuulidde nti kkumpi ensonga ezaaviiriddeko abasuubuzi okwekalakaasa wiiki ewedde okwabadde ey’omusolo gwa kkiro, ey’ebintu ebyakwatibwa URA, ey’engassi ne konteyina ezaateekeddwaako envumbo, zonna olukiiko luno lwazikozeeko okusobozesa abasuubuzi okukola emirimu gyabwe mu sizoni ya Ssekukkulu n’omwaka ogujja nga basanyufu.
Ku nsonga y’omusolo gwa kkiro, kaabinenti yaguyimiriza okumala emyezi esatu (3) kiyambe Gavumenti okugyetegereza oluvannyuma lw’okuzuula ng’ebimu ku bigendererwa ebyaguteesaawo omuli okutondawo emirimu ekiva ku kirime kya pamba n’okutaasa amakolero ne Bamusigansimbi agakola ebintu ebikivaamu tebyatuukirira bulungi.
Omwogezi wa FUTA, Moses Lwegaba, yagambye nti Nabbanja yabategeezezza nti Gavumenti yakizudde nga Bamusigansimbi abaweebwa omukisa gw’okukolera mu ggwanga ebintu ebiva mu pamba abasinga baava dda ku mulamwa ate ng’abamu n’obusobozi obubikola tebabulina ekibaviiriddeko okwebbirira ne babisuubula ebweru w’eggwanga okubitundira wano. Embeera eno, okusinziira ku Katikkiro, yeeviiridddeko abasuubuzi okunyigirizibwa ne batuuka n’okubba omusolo.
Ku nsonga y’abasuubuzi abasuubulira ku bbaasi eziva e Kenya, kabinenti yalagidde URA okuta emmaali yaabwe yonna bagende bakole. Kyokka balina okusasula emisolo gye babadde basasula bulijjo.
Ate ku kya konteyina ezateekebwako envumbo n’okukuumirwa mu sitooowa ne bondi za URA, nazo kabinenti n’eragira bazite. Wabula nga nazo zimaze okusasula emisolo gyazo emikadde.
Engassi ebadde yateekebwa ku mmaali y’abasuubuzi ey’enjawulo, nayo kabineeti yalagidde eggyibwewo basasula misolo gyokka egiri mu mateeka.
“Omusolo gwa kkiro kaabinenti yasazeewo guyimirire okumala emyezi esatu nga Gavumenti bwe yeetegereza ensonga eno era kati URA yaakubala omusolo gw’emmaali yaabwe nga yeeyambisa ‘valuesNabbanja bwe yategeezeza ng’asisinkanye abakulembeze ba basuubuzi. Wabula zo ‘values’ z’omusolo gwe bintu ebiva ebweru w’eggwanga zaasigaddeyo ku bitundu 35.
Ensonga endala omuli; eza EFRIS, balandiroodi abagaba lisiiti ezitali ntuufu n’endala, offiisi ya Katikkiro yazirekedde akakiiko akaatondeddwaawo okukola ku nsonga z’abasuubuzi akaakulemberwa minisita w’ebyobusuuzi, Sanjay Tanna.

ABASUUBUZI BASANYUFU N’EBIRAGIRO BYA PULEZIDENTI
Bino abasuubuzi baabisanyukidde era Hajji Kamadi Ssimbwa, asuubula engoye empya ku Nabugabo yategeezezza nti; “Tuli basanyufu olw’okuyimiriza omusolo gwa kkiro kuba gubadde gwatufuukira ekizibu”. Yasabye pulezidenti n’ensonga endala omuli eya ‘values’ ezikyali waggulu n’endala nazo zikolweko.
Ate Ibrahim Sseruyange ne Arion Kayongo, abakolera ku kizimbe kya Freedom Center, ku nsonga ya ‘values’ bagamba nti okusigalayo ku bitundu 35, Gavumenti eba tennakkakanya ku misolo ku ngoye.
Abalala okwabadde Muhammad Kasamba, akolera ku City Base (eyali Mukwano Arcade) ne Harriet Namukasa, atunda gomesi ku kizimbe kya Magoba, nabo beebazizza Gavumenti olw’okubawonya engassi ne fayini, URA zeebadde ebabinika. Kyokka ne basaba pulezidenti ateeke ebiragiro bye yayisizza mu buwandiike, kibayambe okweyambisa ebiwandiiko bye ku URA.
“Twagala Gavumenti ekole ne ku nsonga endala omuli eya EFRIS n’abaserikale ba URA abawamba emmaali olw’ensonga ez’enjawulo,” Haniphah Namuwonge, omu ku basuubuzi ba gomesi mu Magoba Arcade bwe yategeezeza.
Bino we bijjidde ng’abasuubuzi baakamala okwekalakaasa olw’ensonga ez’enjawulo ekyawaliriza Pulezidenti okulagira Katikkiro okuyingira mu nsonga zaabwe abayambe okuddamu okutambuza emirimu gyabwe. Era ebyavudde mu nteekateeka ya Katikkiro, bye bituusizza abasuubuzi okufuna ku buweerero.

Akulira URA akkirizza ebisaliddwaawo 

Akulira URA, John Musinguzi eyabadde mu lukiiko lwa Nabannja yeeyamye okuteeka mu nkola ebyayisiddwa kabineti. “Tujja kugoberera ebyayisiddwa kabineti era tuteeke mu nkola bye yalambise,” Musinguzi bwe yategeezezza.URA EYISE ABASUUBUZI
Mu nteekateeka ey’okussa mu nkola ebisaliddwaawo n’okumalawo obugulumbo wakati waayo n’abasuubuzi, URA eyise abasuubuzi n’abakulembeze baabwe mu lukiiko enkya ku Lwokutaano.
URA egenda kuwuliriza okwemulugunya kw’abasuubuzi, okuwuliriza ensonga ezikyabasoomooza n’okukubaganya ebirowoozo ku ngeri y’okuzigonjoola.

ABAKULEMBEZE NABO BOOGEDDE KU BIRAGIRO BYA KABINETI
Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasuubuzi ba UATEA, Edward Ntale, asabye Gavumenti okugenda mu maaso n’okukendeeza ku miwendo (values) egy’enjawulo egikozesebwa URA okubala emisolo ku bintu ebiyingizibwa mu ggwanga.
“Bw’oggyawo omusolo gwa kkiro, kyokka n’oleka ‘values’ nga zikyali waggulu, kumpi obeera tolina ky’okoze kuba emisolo ku bintu ebiva ebweru w’eggwanga giba gukyali waggulu,” Ntale bwe yategeezezza

Tags: