Amawulire

Aba yunivasite y’e Nkozi balaze ttalanta n’obuyiiya nga boolesa emisono

Kyabadde kijjobi ku Uganda Martyrs University (UMU) e Nkozi mu disitulikiti y’e Mpigi, abayizi bwe baayolesezza emisono ne baleka abalabi nga batenda obuyiiya, ttalanta n’obukugu.

Abawala nga boolesa emisono
By: Ritah Mukasa, Journalist @New Vision

Kyabadde kijjobi ku Uganda Martyrs University (UMU) e Nkozi mu disitulikiti y’e Mpigi, abayizi bwe baayolesezza emisono ne baleka abalabi nga batenda obuyiiya, ttalanta n’obukugu.

Abaana nga boolesa emisono

Abaana nga boolesa emisono

Bino byabaddewo ku Lwokuna nga November 26 wansi w’omulamwa; ‘Redefining Fashion at UMU’. Abayizi abasoma ddiguli mu byemisono n’engoye (Bachelor of Art in Fashion and Textile Design BAFT) be baayolesezza engoye omwabadde ez’abasajja n’abakazi ze baatunze nga bakozesa eby’obutonde okuli ensansa, ensimbi enganda n’ebirala. 
Bano bagamba nti ebintu bino abantu bangi babiraba bulala. Okugeza, Paula Twinomujuni eyakozesezza ensimbi enganda agamba nti abantu balowooza nti zikozesebwa mu kusamira kwokka ekitali kituufu. Ono yayolesezza ebiteeteeyi, sikaati ne bbulawuzi bye yawunze n’ensimbi enganda.

Abaana nga boolesa emisono

Abaana nga boolesa emisono


Abalala baakozesezza wuzi okuluka emisono, embugo, embira, ebisansa n’ebitengi. 
Henry Mujjuzi, omusomesa era nga y’akwanaganya pulogulaamu ya BAFT ku UMU agamba nti abantu abamu balowooza nti ebyemisono bikoma ku kutunga kyalaani. Era nti by’abatasoma oba abaana abatalina magezi. Ayongerako nti omuntu yenna asobola okusoma ebyemisono n’abifunamu ne ddiguli. Mujjuzi agamba nti pulogulaamu ya BAFT baagitandika mu 2018 era okuva olwo batikkidde abayizi bangi era abasinga beekozesa.

Baana bawala nga banyumidde mu buteteeyi obulaga emisono

Baana bawala nga banyumidde mu buteteeyi obulaga emisono


Ye Dr. Kimani Muturi eyabadde omugenyi omukulu yakubirizza abayizi okwetandikirawo emirimu nga bakyali ku yunivaasite kubanga ebyemisono birimu ssente nnyingi ate nga kyangu okwerandiza kubanga engoye buli muntu ezeetaaga. 
Yalangiridde n’empaka abayizi ba yunivasite mwe bagenda okusindana mu by’emisono nga zijjakutandikira ku Uganda Martyrs University. Zino agamba zijjakusoomooz abayizi okukola ennyo basobole okutwala emisono gyabwe ku ddaala ly’ensi yonna. 

Okwolesa emisono

Okwolesa emisono


Ye Lillian Aachar amyuka akulira ebyensoma ku UMU yeebazizza abayizi n’abasomesa baabwe okuyiiya emisono egitakunama era egitavvoola Bukatoliki. Yabawadde amagezi okusaba yunivasite bizinensi y’okutunga ggawuni kubanga obukugu babulina ate nga yunivasite esaasaanya ssente mpitirivu okugula ggawuni ezo buli mwaka
Tags: