Omuvubuka agambibwa okubba essimu yeegaanyi omusango n'asindikibwa ku limanda

RONALD Tumwiine 20, omutuuze wa Ario ku luguudo lwa Lubaga road ye yasimbidwa mu kkooti ya LDC mu maaso g’omulamuzi Martins Kirya n’asomerwa omusango gw’obubbi.

Omuvubuka agambibwa okubba essimu yeegaanyi omusango n'asindikibwa ku limanda
By Peter Ssuuna
Journalists @New Vision
#Amawulire

Okusinziira ku ludda oluwaabi, nga July 25, 2022 ku Café Secoz Restaurant mu zzooni ya Kikajjo esangibwa mu muluka gwa Kisenyi II mu disitulikiti y’e Kampala yabba essimu ekika kya Infinix X6STB midnight enzirugavu mu langi ebalirirwamu emitwalo 50 nga yali ya Small Mary.

Tumwiine mu kkooti

Tumwiine mu kkooti

Tumwiine omusango yagwegaanyi era omuwaabi wa gavumenti n’ategeeza nga okunoonyereza ku musango bwe kwawedde era n’asaba olunaku okutandika okuwulirilako omusango.

Omulamuzi Kirya yamusindise ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga October 4, 2022 lw’anaddizibwa mu kkooti okutandika okuwulira omusango ogumuvunaanibwa.