Poliisi ekomezzaawo loodibbulooka

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola alagidde okuzzaawo emisanvu (loodibbulooka) ku nguudo okufuuza abamenyi b’amateeka g’oku nguudo n’abazigu.

Emmotoka ng’eyita ku musanvu gw’abaserikale..jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#poliisi #loodibbulooka

Bya Eria Luyimbazi

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola alagidde okuzzaawo emisanvu (loodibbulooka) ku nguudo okufuuza abamenyi b’amateeka g’oku nguudo n’abazigu.

Kino kiddiridde Pulezidenti Museveni okuwa ekiragiro okuzzaawo emisanvu ku nguudo egyali gyaggyibwawo oluvannyuma lw’abamu ku basuubuzi nga bayita mu Katikkiro Robinah Nabbanja okulaajana nti basusse okulwa mu nguudo olw’emisanvu gino.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti okuzzaawo emisanvu kigendereddwaamu okukendeeza ku bubenje oluvannyuma lw’okukizuula nga baddereeva basusse okuvuga endiima.

“Twagala okutegeeza eggwanga nti emisanvu egyali gyaggyibwa ku nguudo ez’enjawulo gizziddwaawo. Okugizzaawo mulimu n’okunyweza ebyokwerinda,” Enanga bwe yategeezezza eggulo.

Yagambye nti era poliisi yakizudde ng’abazigu n’abamenyi b’amateeka abalala babadde batandise okuteega abantu ne babanyaga ssaako n’ababbi b’ebisolo ababadde babitambuza nga tewali abakuba ku mikono kuba tewabadde kwekebejja n’okubabuuza ebikwata ku bisolo bye batambuza.

Yategeezezza nti abaserikale bayunguddwa okugenda mu bifo awagenda okuteekebwa emisanvu era nga baweereddwa ebiragiro kwe balina okutambulira.
Yagambye nti era abaserikale balina okwerwanako singa babeera balumbiddwa nga bwe gwali e Luweero, abazigu bwe baalumba abaserikale ku ‘Check point’ ne battako babiri ne batwala n’emmundu.

Yasabye abakozesa enguudo okugondera ebiragiro ebinaaba biweereddwa abaserikale omuli okuyimirira, okuwaayo ebiwandiiko ebibasabiddwa era abanaagaana baakukangavvulwa.