Poliisi mu Kampala etubidde ne pikipiki 498

POLIISI y'ebidduka mu Kampala n'emiriraano etubidde ne pikipiki 498 oluvannyuma olw'abagoba baazo okulemererwa okuzinunula bwe zaakwatibwa mu bikwekweto ebibadde bikolebwa.

Nampiima ng'ayogera eri abaamawulire.jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#poliisi #Kampala

Bya Eria Luyimbazi

POLIISI y'ebidduka mu Kampala n'emiriraano etubidde ne pikipiki 498 oluvannyuma olw'abagoba baazo okulemererwa okuzinunula bwe zaakwatibwa mu bikwekweto ebibadde bikolebwa.

Kino kiddiridde poliisi y'ebidduka okukola ebikwekweko ku bagoba ba pikipiki abatalina pamiti zibakkiriza kuzivuga mu Kampala n'emiriraano wakati wa January 12 ne January 14, 2022, omwaka guno.

Omwogezi wa poliisi y'ebidduka Farida Nampiima yagambye nti mu bikwekweto ebyakoleddwa poliisi mu Kampala n'emiriraano yakutte pikipiki 1,690 nga ku
zino pikipiki 1,051, bannyinizo baawadde engassi wabula 498 abagoba baazo balemereddwa okuzinunula nga zitubidde ku poliisi ez'enjawulo.

Yagambye nti waliwo abagoba ba pikipiki abadduka nga abaserikale bazikutte ne basalawo okusindika okuzituusa ku poliisi abalala nga balina okusasula engassi 100,000/-.

Yategeezezza nti okufuna pikipiki eri ku poliisi alina okuwaayo ebiwandiiko ebigikwatako omuli n'okulaga obwannannyini bwayo.

56 BAFIIRIDDE MU BUBENJE
Nampiima yagambye nti mu bubenje 217 obwaguddewo mu ggwanga bwafiiriddemu abantu 56 n'okulumya abalala 247.

Yagambye nti obubenje buno bwasize kuva ku kuvugisa kimama nadala abagoba ba
pikipiki, okusala enguudo obubi, okuvuga endiima n'abatambuza ebigere okutambula nga tebafaayo.

Yategeezezza nti poliisi era yakutte abagoba b'ebidduka 10,825 ne basasula engassi nga kuliko abaabadde bavuga mmotoka ganyegenya, obutaba na pamiti, okuvuga endiima, okuvuga nga boogerera ku ssimu n'emisango emirala.