Famire eraalise okusesemya omukuza atunze ettaka n'alimalawo obwanga n'abwolekeza biggya
Feb 21, 2023
FAMIRE y’omugenzi Ekizaddeki Bwete efunvubidde ku mukuza atunze ettaka lyonna n'alimalawo nga kati obwanga abwolekezza ettaka ly’ebiggya okuziikibwa abaana n’abazzukulu.

NewVision Reporter
@NewVision
Bano balaalise nga bwe batagenda kukkiriza kumalawo ttaka lya Jjajjaabwe bwe nga batunula. Bategeezezza nti n’eryatundibwa bagenda kukola kaweefube w’okulinunula.
Abaffamire nga bakulembeddwa Fassie Sewaruke balumiriza omukuza waabwe Sam Ssendyowa okukozesa olukujjukujju n'atunda emmaali ya Bwete nga kati ali mukulambuza biggya.
Ssendyowa mutabani wa Bwete era nga ye yekka administrator eyasigala ku biwandiiko by’ettaka ery’enjawulo ery’omugenzi Bwete.
Sewaruke yategeezezza nti waliwo ettaka eryali e Kikandwa mu Kakiri nga liwezaako yiika 60 wabula Ssendyowa yatundako yiika 58. Yiika bbiri okuli ekiggya nazo azirumbaganye.
Yayongeddeko n'ategeeza nti Jjajjaabwe Bwete yalina yiika 5 e Nakawuka okuli n’ebiggya wabula zino nazo zitundiddwa nga kusigaddeko yiika 1 kyokka nayo atiisatiisa kugitunda.
Yayongeddeko nti e Nakasongola waaliyo yiika 280 naye kati waasigaddewo yiika 5 zokka ate nga nazo tebalina ssuubi nti tezitundibwanga.
Yalaze okunyolwa olw’ennyumba y’ekiggya e Kikandwa eyakoonebwa oluvannyuma lwa Ssendyowa okutunda ettaka.
Kyokka Ssendyowa Bukedde bwe yamutuukiridde, yategeezezza nti ye buli ky'akola akikola mu butuufu era n'atutegeeza nti ensonga za famire tezirina we zikwataganira na mawulire.
Yagambye nti buli kimu ekikwata ku ttaka yalina ebiwandiiko byakyo nga talaba lwaki abazzukulu ate bakaayanira ettaka kwe batalina wadde akawandiiko konna.
FAMIRE ERAALISE OKUNUNULA EBYATUNDIBWA
Lameck Mabira muzzukulu wa Bwete yategeezezza nti tebagenda kukkiriza ttaka lya Jjajjaabwe kugenda bwe lityo kuba omugenzi yaleka alaalise obutabaako kitundibwa kyonna.
Mabira yagambye nti ettaka lino litundiddwa emyaka 10 emabega wabula bwe bazibuse amaaso ne beekenneenya nga lingi lyatundibwa era ensonga ne bazitwala mu kkooti.
“Bw’otunuulira ettaka Jjajjaffe lye yaleka, tewakyali wadde kuba lyonna alitunze. Ssendyowa akozesa omukisa nti ba 'administrator' abalala baafa nga buli kimu kati y'akirimu,” Mabira bwe yayongeddeko.
Yagambye nti ettaka lyonna eryatundibwa, ensonga nga bwe baazitutte mu kkooti, balina essuubi nti ligenda kununulwa kuba mu kiseera kino ne bwe wabaawo afa, talina waazikibwa.
Damba Bwete naye nga muzzukulu wa Bwete yagambye nti bagenda kufiirawo okulaba nga bafuna obwenkanya era abo bonna abaagula mu bukyamu Ssendyowa abasasule bave ku ttaka.
Yagambye nti omugenzi yaleka awadde ekiragiro nti ettaka lyaguze lya kulimirako kyokka n’okuzikako, eky’okutunda mu kiraamo kye teyakikonako, kati bebuuza Ssendyowa gyajja obuyinza okukola ebyo.
Fassie Sewaruke muzzukulu wa Bwete ng'annyonnyola.
No Comment