Poliisi ekutte 30 e Nakasero mu kikwekweto

POLIISI ya CPS mu Kampala yeezoobye n’abamu ku bantu be baakwatidde mu kikwekweto oluvannyuma lw’abamu okugaana okukwatibwa bwe yabadde efuuza abamenyi b’amateeka

Abamu ku bantu abaakwatiddwa mu kikwekweto kino.jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Poliisi #ekutte #kikwekweto

Bya Eria Luyimbazi

POLIISI ya CPS mu Kampala yeezoobye n’abamu ku bantu be baakwatidde mu kikwekweto oluvannyuma lw’abamu okugaana okukwatibwa bwe yabadde efuuza abamenyi b’amateeka.

Bino byabaddewo mu kikwekweto poliisi ya CPS kye yakoze mu katale k’e Nakasero n’ebitundu ebyetooloddewo ng’eri n’abajaasi okugezaako okufuuza abamenyi
b’amateeka omuli abanywa enjaga n’okwenyigira mu bikolwa ebirala.

Abaserikale bano abaakulembeddwa akulira ebikwekweto ku poliisi ya CPS, David Nahamya.

Poliisi yasoose kusindika basajja baayo abaabadde mu ngoye ezaabulijjo ne bayingira akatale oluvannyuma ne beegattibwako ababadde mu yunifoomu ne batandika okubakwata.

Abamu baagezezzaako okulwanyisa abaserikale wabula ne babasinga amaanyi.