Kagina alambudde olutindo lw'omugga Katonga olugatta oluguudo lwa Kalungu ne Gomba
Mar 04, 2023
AKULIRA ekitongole ky'ebyenguudo ekya UNRA Allen Kagina abitaddemu engatto n'alambula olutindo lw'omugga Katonga agatta oluguudo lwa Kalungu ne Gomba n'akakasa abalukozesa nti Gavumenti egenda kukola omugga guno mu nkola etaddemu kubakaluubiriza.

NewVision Reporter
@NewVision
Kagina abadde ne Bayinginiya b'ekitongole kye abakuliddwa mukama waabwe Tinka Mushinguzi ng'oluvannyuma lw'okwetegereza omugga bakizudde nga gulina amazzi mangi.
Kagina ategeezezza nti wadde baagutaddemu ebigoma by'olubaati naye tebimala kumalawo kizibu ly'olutindo okugwamu ne luttiramu n'abantu.
Minisita Omubeezi Ow'amazzi N'obutonde Bw'ensi Aisha Ssekindi N'omubaka Wa Kalungu East Francis Katabaazi Katongole Nga Baliko Bye Bannyonnyola Akulira Unra Allen Kagina Ku By'oluguudo Lwa Gomba ne kalungu
Wano Kagina ategeezezza nti mu nteekateeka empya,bagenda kuzimba obutindo obutonotono bwanguyize amazzi nga n'ebitoogo biyitamu nga tebizibikiddewo.
Kagina agambye nti minisita omubeezi ow'amazzi n'obutonde bw'ensi Aisha Ssekindi yamutuukiridde n'amubuulira ekizibu ly'olutindo lw'omugga Katonga ogufiiramu n'abantu kwe kujja agwekaanye.
Kagina agumizza abakozesa oluguudo luno bagumiikirize kuba ekizibu kigenda kunogerwa eddagala mu bwangu.
No Comment