Poliisi eraze olukwe lw'okuttta Isma 'Jjajja Ichuli' bwe lwalukiddwa

May 09, 2023

POLIISI n’ebitongole byokwerinda ebirala baraze engeri abatemu gye baaluseemu olukwe lw’okutta Isma Tusuubira abangi gwe babadde bamanyi nga Jjajja Ichuli.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Stuart Yiga

POLIISI n’ebitongole byokwerinda ebirala baraze engeri abatemu gye baaluseemu olukwe lw’okutta Isma Tusuubira abangi gwe babadde bamanyi nga Jjajja Ichuli.

Kigambibwa nti baasoose kumukubira ssimu abasange mu bitundu by’e Munyonyo mu Munisipaali y’e Makindye kyokka bwe yatuuseeyo n’abakubira es­simu nga bamubuzaabuza kwe kubavaako n’akyusa okudda e Kyanja.

Kigambiwa nti mu kusooka ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde, waliwo essimu eyamukubirwa ng’eyamukubira amugamba kimu nti, “Ssebo Isma, tommanyi naye nze nkumanyi bulungi naye ky’enjagala okukutegeeza vva mu ddiiru gye wayingiddemu kubanga tojja kumalako nayo,”

Bambega baamaze dda okufuna amaloboozi n’ennamba eyakubira Isma, wamu n’eya ddereeva we Mathias Wasswa, nga baa­gala balabe, oba ng’ennamba eno ebadde etera okukubira ddereeva n’okumanya omuntu agikozesa.

Kiteeberezebwa nti es­simu y’emu yandiba nga ye yakubira Isma ku Lwomukaaga ng’emugamba okugenda e Munyo­nyo. Abeebyokwerinda bagamba nti mu mbeera eyo omuntu alabika yali ayagala kumanya bwe yali ayambadde, emmotoka gye yalimu, n’abantu be yali nabo.

Okunoonyereza okukoleddwa kulaga nti bano be baamulondoola olunaku lwonna ng’abamu baali batambulira ku ppikipiki nga balina emmundu ekika kya ‘pisito’.

Abamu kigambibwa nti beekwe­ka okumpi n’ekizimbe ekikyazim­bibwa abalala ne babeera emabe­ga wa ttanuulu y’amatafaali) eriraanye ne we baamuttidde.

Wabula abantu abamu baaku­bye ebituli mu bujulizi buno nga bagamba nti, engeri omugenzi gy’ataawaabye musango ku poliisi oba okutegeeza ku mukwano gwe yenna, kirowoozeka nti es­simu eyamukubirwa yandiba nga yabadde y’omu ku banywanyi nga y’ensonga lwaki teyakitutte nga kikulu nga bamukubidde.

KKAMERA BYE ZAAZUDDE

Abakugu mu bya kkamera oku­va ku Ssande babadde beekebejja ebizimbe ebiriraanyeewo ne we battidde Isma, kyokka kyazuulid­dwa nti ezisinga tezikola ebizimbe ebirala tebirina.

Poliisi kati essira eritadde ku kkamera zaayo eziri ku nkulungo y’e Kisaasi ne ku Mbuzi wadde nga bagamba nti kiyinza okubat­walira akaseera okulondobamu abaabadde mu lukwe kubanga essaawa Ichuli we yayittirwa mu kifo kino, abantu baali bangi nga tekiba kyangu kwawula mutemu n’atali.

Essuubi eddala kati balitadde ku bizimbe ebiriraanye akasaawe ka Victory, omugenzi w’agambibwa okuba nga we yasemba okuba bwe yali agenze okusamba omupiira, n’ebifo ebirala okuli; Monte Gar­dens ne Sweetland Gardens.

POLIISI BY’EZUDDE

Poliisi egamba nti abatemu baasudde ppaketi ya sigala ekika kya Sportsman, n’akacupa k’ekyokunywa kya ‘96.8 drink’ .

Poliisi egamba nti egenda ku­kozesa tekinologgiya ow’ekikugu okuzuula abaakutte ku bintu bino bafune endagabutonde zaabwe batandikire okubalondoola.

Ebisosonkole by’amasasi nabyo bye bimu ku bujulizi poliisi bwe yeesigamyeko era nga baamaze dda okukakasa nti bya ‘pisito.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});