Tom Kawere eyasooka okuwangulira Uganda omudaali gw'ebikonde mu mizannyo gya commonwealth afudde
Dec 07, 2021
TOM Kawere eyali omutendesi wa ttiimu y'eggwanga 'The Bombers' afudde.
By Fred Kisekka
Journalist @New Vision
Bya Fred Kisekka
TOM Kawere eyali omutendesi wa ttiimu y'eggwanga 'The Bombers' afudde.
Kawere 94, yafiridde mu maka ge agasangibwa e Lubaga mu Kampala.
Ng’ogyeeko okutendeka ‘The Bombers’ wakati wa 1959 ne 1969, Kawere ye muggunzi w’enguumi eyasooka okuwangulira Uganda omudaali mu mizannyo gya Commonwealth.
Kino yakikola mu mizannyo gya 1958 egyali mu kibuga Cardiff ekya Wales bwe yawangula omudaali gwa feeza mu buzito bwa ‘welter’.
Olivia Kawere muwala w'omugenzi yategeezezza Bukedde nti kitaawe amaze ebbanga nga yakutuuka omugongo oluvannyuma lw'okufuna akabenje ka 'Boda boda' mu 2017.
Salim Uhuru pulezidenti wa UPBC, ekibiina ekitwala ebikonde by’ensimbi mu ggwanga yagambye nti ‘Tufiriddwa omusajja atazzikawo, Kawere kizibu kumwawula ku bikonde mu Uganda kuba yali musaale mu kutandika omuzannyo guno, tunyoleddwa wamu ne ffamire ye”
Leero ku Lwokubiri omubiri gw'omugenzi lwe gugenda okusabiirwa mu lutikko e Lubaga oluvannyuma gutwalibwe ku kyalo Bubuule mu disitulikiti y'e Wakiso abenganda bongere okumukubaako eriiso envannyuma. Waakuziikibwa enkya ku Lwokusatu.
Ajjukirwa nnyo ng’omutendesi eyavumbula Idi Amin nga bw'asobola okukuba bikonde eyaliiko pulezidenti wa Uganda kwossa abazannyi nga Ayub Kalule, John ‘The Beast’ Mugabi, Peter Grace Sseruwagi n’abalala.
No Comment