Mulwanyamuli atenderezza eyali omutendesi wa ttiimu y'eggwanga ey'ebikonde

Dec 08, 2021

EBIKONGE eby’enjawulo ebyetabye mu kusabira omwoyo gwa Tom Kawere eyali omutendesi wa ttiimu y’eggwanga ‘The Bombers’ bitenderezza omugenzi.

By Fred Kisekka
Journalist @New Vision

Bya Fred Kisekka

EBIKONGE eby’enjawulo ebyetabye mu kusabira omwoyo gwa Tom Kawere eyali omutendesi wa ttiimu y’eggwanga ‘The Bombers’ bitenderezza omugenzi.

Bano bakulembeddwa Joseph Mulwanyamuli Ssemwogerere eyaliko Katikkiro wa Buganda, Paul Kawanga Ssemwogerere eyali Pulezidenti wa DP n’abalala.

Bano bategeezezza nti Kawere yakola kinene okuteeka Buganda ku maapu ng’ayita mu mizannyo naddala ebikonde.

Okusaba kuno kwabadde mu Lutiiko e Lubaga nga Msgr. Charles Kasibante ye yakuliddemu Ekitambiiro kya Mmisa.

Mu balala abeetabye mu kusaba kubaddeko Ayub Kalule eyaliko kyampiyoni w’ensi yonna mu bikonde ng’ono Kawere ye yamutendeka ebikonde, Jasper Aligaweesa eyaliko Ssaabawandiisi wa NCS, akakiiko akatwala emizannyo mu ggwanga n’abalala.

Ng’omuzannyi w’ebikonde Kawere ajjukirwa olw’okuwangulira Uganda omudaali ogwasooka mu mizannyo gya Common wealth egyali e Wales mu 1958.

Yatendekako Idi Amin eyali Pulezidenti wa Uganda kw'ossa abazannyi abalala nga John ‘The Beast’ Mugabi, Kalule, Eridad Mukwanga, Leo Lwabwogo n’abalala abaayamba Uganda okukwata ekifo ekyokuna mu bikonde mu nsi yonna mu myaka gya 60,70 ne 80. Yafudde ku Ssande era aziikiddwa leero e Bubuule mu Wakiso.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});